57
ظشح اظج ع غخ ا ثبخ٠ذغ Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem Ash-Sheha ذخ١ش ا٠ىش ػجذ ا ثشد د. ػجذ اKivvunuddwa: European Islamic Research Center (EIRC) & Muhammad Ahmad Kaweesi Nekikasibwa: Khalid Jemba www.islamland.com

خ óذ èغ à ßا خغ à ßبث ظ èج à ß لاعلإا حشظ - Islam land...خ óذ èغ à ßا خغ à ßبث ظ èج à ß لاعلإا حشظ Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem

  • Upload
    others

  • View
    39

  • Download
    0

Embed Size (px)

Citation preview

غذ٠خثبغخ اإلعال جظ اظشح

Abd Ar-Rahman bin Abd Al-Kareem Ash-Sheha

د. ػجذ اشد ث ػجذ اىش٠ اش١ذخ

Kivvunuddwa:

European Islamic Research Center (EIRC)

& Muhammad Ahmad Kaweesi

Nekikasibwa:

Khalid Jemba

www.islamland.com

الرحيم بسم هللا الرحمن

Kulwe'rinnya lya Allah Omusaasizi ow'ekisa ekingi ennyo

Amatendo amalungi era amajjuvu ga Allah, n'okusaasira

n'emirembe bibeere eri Nnabbi waffe Muhammad, n'abantu be,

nemikwano gye emirembe gyonna.

Mazima obusiraamu butunuulira obwetaavu eri akaboozi

k'ekikulu nga ekimu ku byetaago ebyetaagisa okukkusa

(okumatiza), ssinakindi akaboozi kaagalibwa era kakubirizibwa

mu busiraamu singa kabeera kakoleddwa mu kkubo Allah

lyeyakkiriza, era akaboozi tekeesittaza era tekalina kwewalibwa.

Allah Agamba nti:

خ " فؼ ا ازت طشح م مبؽ١ش ا ا ج١ ا اغبء اد بط دت اش ص٠

آة ا ذ دغ ػ للا ١ب ذ١بح اذ زبع ا ذشس ره ا ؼب ال خ غ ا خ١ ا ()

"

Amakulu: {kwawundirwa abantu okwagala ebyegombebwa,

ng'abakyala, n'abaana, n'endulundu za zaabu ne feeza,

nembalaasi enjigirize, n'ebisolo ebirundibwa, n'ennimiro. Ebyo

byeby'okwewunda by'obulamu bw'ensi, era Allah y'alina obuddo

obulungi}

Era omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti:

" nawundibwa (nawebwa okwagala) ebintu bibiri; abakyala

(bakyala ba Nnabbi) n'akawoowo, era okutebenkera kwange

kwateekebwa mu swala". (Mustadraku 'ala swahiihayini 2/174,

Ahmad ne Annasae)

Obusiraamu bwagaana okwewala akaboozi k'ekikulu,

olw'ensonga nti ediini y'obusiraamu ekwatagana n'obubumbwa

obutuufu obwo obutakontana nayo, era bitambulira wamu. Era

obusiraamu butuukiriza obwetaavu eri akaboozi nga buyita mu

makubo agakkirizibwa okwekkusa nago, ssaako okukuuma ensa

1) Essuula Aal-‘Imran: 14

n'okwewala okweyisa nga ebisolo. Obwagazi buno busobola

okufuuka ensonga y'omuntu okuyingira omuliro singa abukozesa

mu ngeri etakkirizibwa mu busiraamu (singa abuteeka mu

haraam).

Mu Hadithi nga eva ku Abu Huraira Allah amusiime yagamba

nti: "yabuuzibwa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

ku kintu ekigenda okusinga okuyingiza abantu ejjana n'agamba

nti: okutya Allah n'empisa ennungi. Era naabuuzibwa ku kigenda

okusinga okuyingiza abantu omuliro nagamba nti: omumwa

n'obwerere" Tirimithiyyu 4/363 (2004) aswahiihat (977).

Mu kitabo kino ekifunze tujja kugezaako okumanya ekkubo

obusiraamu lyebwagoberera okuteekateeka akaboozi k'ekikulu,

n'okukagulumiza okutuuka ku ddaala nti bwakafuula ibaada

(ekikolwa ekirimu empeera) singa kabeera kakoleddwa mu

makubo amatuufu ag'obusiraamu. Era afunamu empeera nga

bwazifuna mu mirimu emirungi gyonna emirala.

Hadithi nga eva ku Abu hurairah asiime ku ye yagamba nti

abasajja mu ba swahaaba ba Nnabbi okusaasira n'emirembe

bibeere ku ye baagamba Nnabbi nti: owange Omubaka wa Allah,

abagagga batutte empeera zonna, basaala nga ffe bwetusaala, era

nebasiiba nga bwetusiiba, naye ate bo basaddaaka mu nfissi

y'emmaali yaabwe, n'abaddamu nti: " Allah teyabateerawo

makubo gaakusaddaaka?! Buli tasibiiha (SUBUHAANA LLAH)

saddaaka, ne ttakibiirat (ALLAAHU AKBARU) saddaaka,

n'okutendereza Allah (AL HAMDU LILLAHI) saddaaka, ne

tahaliili (ekigambo; LAA ILAAHA ILLA LLAHU) saddaaka,

okulagira obulungi saddaaka, okuziyiza ekibi saddaaka,

n'okwegatta ne bakyala bammwe saddaaka" nebagamba nti:

owange omubaka wa Allah, omu kuffe bwamalira obwagazi bwe

eri mukyala we namwo mulimu saddaaka?! Nabagamba nti:

mulaba mutya singa abumalidde mu haraamu, yandibadde

n'omusango? nabwekityo bwakimalira ewakkirizibwa (mu

halaali) afuna empeera" Bukhari ne Muslim (1006).

Mazima obusiraamu bwateekawo obufumbo nga ly'ekkubo

ettuufu omusiraamu mwalina okumalira obwagazibwe (eri

akaboozi k'ekikulu), era nebukubiriza okubwettanira, Nnabbi

okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " abange

mmwe abavubuka, alina mu mmwe obusobozi (kirungi) awase,

kubanga kyekisinga okukkakkanya amaaso, n'ekikuuma

n'obwerere, wabula atalina busobozi yeekuumire ku kusiiba,

mazima kwo kujja kumutaasa (obutagwa mu bwenzi)". Bukhari

ne Muslimu.

Era obusiraamu butwala obufumbo ngakyabuwaze mu butonde

bw'omuntu okusobola okukkakkanya omw'oyo. ate

mumpangaala y'abantu obufumbo y'ensibuko y'omukwano

n'okusaasiragana wamu n'okwerekereza. ate mu ndaba y'obuntu

lye kkubo eriwaniridde okubeerawo kw'ekitonde "muntu" nanti

nga liyita mukuzaala. y'ensonga lwaki okusuula obufumbo

kubeera kusuula kw'egyo emigaso gyonna, era kubeera kuva ku

nkola ey'obutonde n'obuwangwa ate nga kwebyo byombiriri

obubumba bw'omuntu kwebwatondebwa.2

Ekiruubirirwa ky'obufumbo mu busiraamu kwekwekkusa

n'okutebenkera kw'omwoyo, n'okubeerawo kw'okusaasiragana

wakatiw'abafumbo ababiri. Allah agamba nti:

سد ح د ث١ى جؼ اجب زغىا ا١ب أص فغى أ خك ى أ آ٠بر " خ ا

)ف ره ٠زفىش ( "٠٢بد م3

Amakulu: {nemububonero bwe (Allah) mazima yabatondera nga

aggya mu mmwe mwennyiniabakyala mulyoke mutebenkere

gyebali, era n'ateeka wakati wammwe okwagalana

2) bisange mu kitabo kya Alkhawuliyyi ((Omukyala wakati w'amaka

n'ebweru))

3) Essula Arruum: 21

n'okusaasiragana. Mazima mw'ebyo mulimu obubonero (obulaga

obuyinza bwa Allah) eri abantu bafumiitirize}

N'ekigendererwa ekirala kwekukkakkanya n'okukuuma

abafumbo buli omu eri munne obutaseerera oba obutagwa mu

ttosi ly'ebyambyone (nga obwezi). Allah agamba nti:

" جبط ز أ جبط ى "4

Amakulu: {bo (abakyala) kyambalo kyammwe, nammwe

(abasajja) muli kyambalo kyabwe}

Y'ensonga lwaki obusiraamu busanga nga ababwawukanako oba

abakontana nabwo, omuli n'abo obutonde bwabwe

bwebwefuulira, naabo abakowoola eri ebbeetu ly'okwegatta,

eryo erikuubagana n'amateeka g'eddiini. Obusiraamu

bwawaggulu nnyo bwewaza abagoberezi baabwo okubeera nga

ebisolo ebyo ebitalina nsalo, nanti bimala eby'etaago byabyo nga

bwebyagadde, era mu mbeera yonna gyebisisinkanyeemu.

Ngazzambi ddene nnyo, era nga musango gwannagomola,

omuntu okusiga ensigoye munda etakkirizibwa, yagamba

omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "tebiyinza

kweyoleka obwenzi ne ribaa (ennyongeza eziyizibwa) mu bantu

(mu kifo) okuleka nti babeera beekakasizzaako ebibonerezo bya

Allah okubatuukako."swaheeh attargiib (1860)

Obusiraamu bulera abagoberezi baabwo okwewala obwenzi,

n'okwetukuza, era bubabuulirira embulirira ennungi, mu nkola

eyo buwa obweyamu olw'okwagala kwa Allah okunyweza

enneeyisa yaabwe, n'okuteekawo ekkubo ettuufu eryo

mwebasobola okuyita okukkusa obwagazibwabwe. Hadith nga

eva ku Abu Umaamat agamba nti: omuvubuka yajja eri Nnabbi

okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'agamba nti: owange

Omubaka wa Allah, mpa olukusa lw'okukola obwenzi (bubeere

halaali gyendi)!! Abantu nebamusitukiramu

4) Essuula Albakara: 187

nebamukambuwalira, nga bamugamba, ssirika, ssirika. Nnabbi

nagamba musembeze eno, n'asembera kumpi waali. (Omwogezi

wa hadithi) yagamba nti: naatuula. Nnabbi namubuuza nti;

oyagala ekikolwa ekyo kikolebwe kunnyoko. Naddamu nti:

nedda ndayira Allah, nsaba Allah anfuule omutango gwo5,

n'agamba: nabwekityo abantu tebaagala kikolwa ekyo ku ba

nnyaabwe. Namugamba nti: oyagala kikolebwe ku mwana wo,

naddamu nti: nedda ndayira Allah, Nsaba Allah anfuule

omutango gwo, n'agamba nti: nabwekityo abantu tebakyagala eri

bawala baabwe. N'agamba: oyagala kikolebwe ku mwannyoko.

Naddamu nti: nedda ndayira Allah, Allah anfuule omutango

gwo. N'agamba nti; nabwekityo abantu tebakyagala ku

bannyinaabwe, nagamba nti: oyagala kikolebwe ku ssengawo?

Naddamu nti: nedda ndayira Allah, Allah anfuule omutango

gwo, n'agamba nti: nabwekityo abantu tebakyagala ku ba

ssengabwe, n'agamba nti: oyagala kikolebwe ku maamawo

omuto, naddamu nti: nedda ndayira Allah, n'amugamba nti:

nabwekityo abantu tebakyagala kukolebwakubamaama baabwe

abato. Yagamba (omw'ogezi wa hadithi) nti: Nnabbi

n'amukwatako n'amusabira nti: Ayi Allah sonyiwa amazambi ge,

otukuze omutima gwe, okuume obwerere (obutagwa mu

bwenzi), okuva olwo omuvubuka tewaalinga kimuwugula."

Ahmad (22265)

Mu busiraamu temuli busossodooti (okweziyizaako okuwasa oba

okufumbirwa), wadde okuva ku dduniya n'okuleka okunyumirwa

ebirungi by'ensi ebyo Allah byeyakkiriza. Hadithi nga eva ku

Anasi bun Maliki Allah asiime ku ye yagamba nti: Abasajja

basatu bajja ku mayumba ga Nnabbi Okusaasira kwa Allah

n'emirembe bibeere ku ye nga babuuza bakyalabe ku kusinza

kwa Nnabbi Okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye,

5) ekigambo ekyo kitegeeza okwewaayo okw'amazima okutaasa Nnabbi

n'obulamu bwo wamu n'emmaali, newankubadde abamanyi abamu

bakitamwa.

bwebamala okubaabuulira baalaba ng'emirimu emitono

gyebasobola nabo okukola (nebagala ate basukke ku Nnabbi)

nebagamba nti: mazimaddala ffe tuli luddawa kukusinza kwa

Nnabbi, ate nga yye yasonyibwa ebyakulembera mu byonoono

bye n'ebyoluvannyuma. Omu ku bo n'agamba nti: " wamma nze,

njakusaalanga ekiro kiramba obuwangaazi bwange bwonna.

Omulala n'agamba nti: ngenda kusiibanga omwaka gwonna, sijja

kusiibulukukamu lunaku nalumu. Omulala n'agamba nti: nze

ngenda kwerekereza abakazi, sigenda kuwasa obuwangaazi

bwange. Nnabbi bweyajja n'abagamba nti: mwe mwayogedde

kino ne kino?! Mbalayirira Allah nti nze mbasinga obugonvu eri

Allah, era nze mbasinga okumutya, wabula nze nsiiba

nensibulukuka, nensaala nenneebaka, era mpasa n'abakyala, oyo

yenna anaava kunkola yange ssi wa mukibiina kyange." Bukhari

(4776).

Era mu busiraamu temuli kugwira bugwizi nga bisolo okutaliiko

kkomo mu kukkusa ebyetaago. Muhammad kutwubu agamba:

akaboozi k'abakulu mu busiraamu tekalina buzibu, obusiraamu

buteekawo buli mu maaso ga bwagazi obw'obutonde ensalo

ezitaggalira makubo gaabwo, wabula ennongosereza

okubulinnyisa eddaala.Obusiraamu buteekawo amakubo

g'okumalamu obw'etaavu, okufaananako nga bwolaba olutindo

oluliindiddwa waggulu ku mazzi agakulukuta (okugeza nga

omugga), teluziyiza nkulukuta y'amazzi, wabula lugateeka ku

mutindo ogwawaggulu, n'okuteleeza obukulukutiro bwago,

neluwa amazzi ebbeetu okutuuka mukifo ekirala gyegandibadde

gatatuuka mu kusooka, nabwekityo obusiraamu bwebukola

kubuli byetaago ebiri mu bubumbwa bw'omuntu… Obusiraamu

buteekawo amateeka agateekateeka obutonde so si kubutangira.

Obusiraamu tebwenyinyara byetaago eby'obutonde wabula

buteekawo amakubo agakkirizibwa, agali mu nsalo za Allah ezo

zeyasala era bweyamala n'atulagira nti: (" ال رؼزذب ") Amakulu:

{temuzisukka nga} ensalo ezo Allahazimanyi okusinziira

kukumanya kwe okw'enkomeredde, n'okugera kwe nti z'ensalo

ezeesigibwa okukkusizaamu obwagazi obwo busobole okuzaala

ebirungi (n'emigaso) eri buli kinnoomu n'abantu bonna

okutwaliza awamu… n'obugwenyufu bujulira era bukakasa

obwetaavu bw'okutegeka n'okuteekateeka ebyetaago

by'obutonde ebirala okuleka ebikolwa eby'obukaba!! Ebyo byo

abagwenyufu bagaala bibeerewo nga tebirina kkomo, wabula

beesigamire ku njakirizi y'obwagazi bwabwe, n'omukwano

ogw'empatiira.

Obugwenyufu tebukkiriziganya nakuleka bwannanyini (mu

by'obugagga) nga bwa kireereese nga ssi buteeketeeke, era

tebuleka muntu kufuga buli kimu nga bwayagadde, oba

kyayagadde kyonna, era ekyo abagwenyufu nabo bakitwala nga

bubbi obwetaaga okukangavvulwa mu mateeka. . . nabwekityo

eby'okulya, n'okwambala, n'okusula. . . tebaagala birekebwe awo

ttayo!!

Mazima obusiraamu butunuulira akaboozi k'ekikulu nga

ekyetaago ekiteekwa okutuukirizibwa (okukkusibwa) era nti

tekalina kuziyizibwa, wabula kalina okubeera mu makubo

amatuufu ago Allah geyatulambululira, Oyo eyatonda omusajja

n'omukazi nga abajja mu kanyinkuuli akava mu mazzi

agafukibwa. Era Allah yafuula obufumbo nga lyekkubo

ly'okwekkusa ku njuyi zombi, era obusiraamu bwewaza

nessekwewaza yenna okwekkusa n'ekirala ekitali bufumbo.

Allah agamba nga awaana abeekwata kunkola eyo nti:

( ئ )"لذ أفخ ا خبشؼ ف طالر ( از٠ اغ ػ از٠ )

( ؼشػ ( وبح فبػ ض از٠ )( دبفظ فشج از٠ ( اال (

( ١ غ١ش فب ب ىذ أ٠ ب أ اج ساء ره فؤئه ػ أص اثزغ ( ف

( ؼبد ا 7" )

Amakulu: {mazima ddala beesimye abo abakkiiza. Abo bo mu

kusaala kwabwe nga beewombeefu. Era abo bo

kuby'okwegayaaza bakuba amabega. Era abo bo mu kutoola

zakka zabwe bakozi. Era abo bo abakuumaobwerere bwabwe.

Wabula ku bakyala baabwe, oba abo emikono gyabwe egya ddyo

be gyafuna (abazaana) mazima ku bo sibanenyezebwa. Naye

omuntu anonya emabega w'ekyo, nabo be baba basusse

ekikomo.}

Era Allah yategeeza nti okuwasa yenkola y'ababaka n'abatume

Allah asse okusaasira ku bo bonna, olw'okwagala okwagazisa

abantu n'okukubiriza obufumbo. Allah agamba nti:

ب جؼ لجه ب سعال مذ أسع ٠خ " " رس اجب أص 7

6) Essuula almu-uminuun: (1-7)

7) Essuula Arra-ad: (38)

Amakulu: {eratwatuma ababaka oluberyeberye lwo

netubateerawo abakyala n'ezzadde}

Era obusiraamu bulagira abagoberezi baabwo okwanguwa

okwanukula okusaba kw'oyo anonya okwekkusa n'obufumbo.

Hadith nga eva ku Abu Hurairat Allah asiime ku ye yagamba nti:

yagamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeereku

ye nti: "bwabajjira oyo gwemusiimye empisa ze ne ddiiniye,

mumuwe omukyala, bwemutaakikole kijja kubeera kikemo era

obwonoonefu obunene ennyo" Tirmithi n'egololwa Albaan

Obusiraamu bwakubiriza abazadde okugonza ensonga

z'okuwasa, Omubaka kyava agamba nti: " ekiwa omukyala

emikisa (Baraka mu maka) kwekugonza okwogerezebwakwe,

n'amahalege, n'enda ye (Allah amugondeza embeera z'olubuto

n'okuzaala).

Era obusiraamu bulagira okumwaniriza, n'obutamugoba

olw'obwavu. Allah agamba nti:

ػ بذ١ اظ ى ىذا ال٠ب أ " للا ٠ىا فمشاء ٠غ ا بئى ا جبدو

( اعغ ػ١ للا ( "فؼ8

Amakkulu: {Mufumbize ab'obusa mummwe n'abalongoofu mu

baddu bammwe, n'abazaana bammwe, bwebabeera ngabaavu,

Allah ajja kubagaggawaza mu bulungi bwe, mazima Allah

Mugazi era Mumanyi.}

Agamba omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku

ye nti: " abantu basatu Allah yeeyama okubayamba; alwana mu

kkubo lya Allah, awasa nga ayagala kwekuuma (obutagwa mu

bwenzi), n'omuddu asaba okwegula nga mweteefuteefu

okutuukiriza."Al-Albaani mu Gaayatul maraam.

Era Nnabbi yalagira okusingira ddala abavubuka okwanguwa

okuwasa, era naasomesa ekkubo erikkakkanya oyo atalina

8(Essuula Annuuru: (32)

busobozi bwa kuwasa, nagamba Nnabbi okusaasira kwa Allah

n'emirembe bibeere ku ye nti: "abange mwe abavubuka alina

obusobozi awase, mazima ekyo kyekisinga okukkakkanya

amaaso, n'okukuuma obwerere, ate oyo atalina busobozi, asiibe

mazima okusiiba ku ye ngabo." (emuziyiza obwenzi).

Omuntu atalina busobozi bwa kuwasa, olw'obufunda bw'ensawo,

oba nga tasobola kwetikka buvunanyizibwa bw'amaka,

obusiraamu bwamulagira abeerenga yeekuuma n'okukoma

kubwagazi bwe aleke kweyisa nga bisolo. Allah agamba nti:

ال ٠ ١غزؼفف از٠ " " فؼ للا ىبدب دز ٠غ١ جذ9

Amakulu: {bateekwa besseemu ensa (beekuume obutayenda)

abo abatalina busobozi kuwasa okutuusa Allah

lwalibagaggawaza mu bulungi bwe.}

Era Kur'ane ekuba ekifananyi ekirungi eky'obuteeyisa nga bisolo

(okulya buli kiyita mu maaso) ekyafaayo kya Yusufu emirembe

gibeere ku ye, kibeere eky'okulabirako eri abavubuka

b'obusiraamu. Allah agamba nti:

لبذ ١ذ ه ل اة غمذ الث فغ ف ث١زب ػ در از سا " ا ؼبر للا بي

( ال ٠فخ اظب ا ا ض سأ سث أدغ ال أ ثب ذ ث مذ )

خظ١ ػجبدب ا فذشبء ا ا ء اغ وزه ظشف ػ سث ( " ) ثشب

Amakulu: {(omukyala muka- nnyinimu) ye yennyini, oyo mu

nnyumba (Yusufu) mwe yaliabeera, n'amwegomba n'ayagala

(Yusufu) amusobyeko. N'aggalawo enzigi, n'amugamba nti:

Jjangu ndi wano nkwewadde. (Yusufu) n'amugamba:

nneekingiriza ne Allah! Mazima ddala (bbaawo) mukama

wange, yalongoosa ekifo kyange (n'angulumiza). Mazima ddala

tebagenda kwesiima abalyazaamanyi (ab'enzi). (23) Mazima

(omukazi) yamwegomba (naye Yusufu) n'amwegomba, singa

teyalaba kabonero ka Allah we (kamugaana

9) Essuula Annuuru: (33)

10) Essuula Yusufu: (23-24)

kumusobyaakoyandimwagadde). Bwe kityo (twakikola) tulyoke

tumukyuse okumuggya ku bubi n'obuwemu. Mazima ye

(Yusufu) yali wa mubaddu Baffe abatukuza emirimu gyabwe.

(24)}

Nebwekibeera nga enkomerero y'obuteedibaga kusibwa mu

kkomera. Allah agamba ng'atunyumiza ekyafaayo kya Yusufu

emirembe gibeere ku ye nti:

" ب آ ٠فؼ ئ فبعزؼظ فغ در ػ مذ سا ف١ ز از ش لبذ فزى

( بغش٠ اظ ١ىب اال ( لبي سة اغج ١غج ب ٠ذػ ا١ أدت ا

( ١ جب ا أو أطت ا١ ( فبعزجبة سث فظشف رظشف ػ و١ذ

( ؼ١ ١غ ا اغ ا و١ذ " (ػ11

Amakulu: {(Mukyala Al-Aziizi) n'agamba nti: Oyo mmwe gwe

mwabadde munnenyeza? Mazima nnamwagadde okumukolako

eby'ensonyi ye n'agaana, (naye) bw'anaaba takoze ekyo kye

mmulagira ajja kusibibwa ddala era ajja kubeera ow'omu

bagayizibwa (32) (Yusufu) n'agamba: ayi

Mukamawange(Allah)! Ekkomera lyelisinga okwagalwa gyendi

okusinga (okukola) ekyo kye bampitira okugenda gye kiri,

bw'onooba Ggwe tonzigyeko nkwe zaabwe nja kukyukira gye

bali mbeere ow'omu batamanyi (33) Mukamawe (Allah)

n'ayanukula (okusaba kwe) n'amuggyako enkwe zaabwe. Ye

Awulila, era Amanyi. (34)}

Newankubadde obusiraamu bwaziyiza okumalira obwagazimu

makubo agatakkirizibwa, wabula singa embeera ebeera ebizze,

omuntu natya okugwa mu bwenzi akkirizibwa okwekamula

(masturbation)n'akkakkanya obwagazibwe. Singa ddala abeera

kukisenge nga talina kyakukola okujjako obwenzi. Mumbeera

eno alondawo okwekamula, ssikubeera nti kukkirizibwa wabula

mungeri yaakulondawo ekibi ekisinga obutono kubibiri.

11) Essuula Yusufu: (32-33)

Kimanyikiddwa bulungi nti obwenzi limu ku mazambi agasinga

obunene, sso nga n'okwekamula kibi era kyaziyizibwa.

Obusiraamu bwaziyiza ensonga zonna eziralula (ezipaaluusa)

obwagazi, okujjako ebyo ebibeera wakati w'abafumbo ababiri,

mwekyo nno nga butya abantu okugwa mwebyo obusiraamu

byebwewaza era byebwaziyiza. Kimanyikiddwa bulungi nti

singa omuntu obwagazi bulinnya nebukwata enkandaggo, abeera

alina okunonya gyanaamalira amanyi ago n'obwagazi,

nebweribeera lya haaramu nga obwenzi oba ebisiyaga. Nga

tafuddeeyo bakkiriziganyizza n'omukazi oba amukutte

lwampaka, oba ssi kyookwekamula era nga ky'ekitono ate nga

nakyo tekikkirizibwa. Mu bintu obusiraamu byebusomesa

mwebuyita okukoma ku kupaaluuka kw'obwagazi geegano;

Obusiraamu bwalagira okubeera obulindaala mu kulera

abaana, nebuyigiriza okwawula wakati w'abawala n'abalenzi mu

bisulo. Nnabbi yagamba nti: " mulagire abaana abato okusaala

bwebaweza emyaka musanvu, mubakube (singa babeera

baganye okusaala) nga bawezezza emyaka kkumi, era

mubaawule nemubisulo" Abu Dawuda.

Omwo mulimu okwewala ebiyinza okugwawo mu kuzannya

wakati waabwe oba okukonagana kw'emibiri nga beebase

ekiyinza okuviirako okuzuukusa obwagazi n'okulinnyisa

obwetaavu eri ebikolwa eby'abakulu.

Obusiraamu bulagira abakyala abasiraamu okwebikka ku

basajja abatabalinaako kakwate, mwekyo nga mulimu okukuuma

obukkakkamu bwabwe n'okubeewaza obwenzi, n'okubateeka

ewala n'embeera eyinza okulinnyisa obwagazibw'abasajja. Allah

agamba nti:

ر جالث١ج ػ١ ٠ذ١ ١ ئ غبء ا ثبره اجه لص ل ه "٠ب أ٠ب اج

للا وب فال ٠ئر٠ ٠ؼشف ب )أد أ ( "9 غفسا سد١

Amakulu: {Owange ggwe Nnabbi! Gamba bakyala bo ne bawala

bo n'abakyala b'abakkiriza beebikirirenga enkaaya zaabwe (bwe

babanga nga batambudde okuva mu maka gaabwe). Ekyo kye

kisembeza okubamanya (nti bakitiibwa era ba nsa) ne

batanakuwazibwa. Ne Allah yali (bulijjo) Omusonyiyi,

Omusaasizi. (59)}

Obusiraamu bwakkiriza abakyala abakuze mu myaka

abatakyasuubira kufumbirwa, era abo abatazunza njuki, nga

tebeegomba wadde okwegombebwa okwambala engoye

empewufu wabula ezitalaga bwerere bwabwe o ng'enviiri.

Wabula basobola okubikkula ebyenyi byabwe n'emikono

newankubadde okubibikka ky'ekisinga obulungi. Allah agamba

nti:

ص١بث ٠ؼؼ جبح أ ىبدب ف١ظ ػ١ ر ال ٠شج اغبء اال اػذ م ا "

( ١غ ػ١ ع للا خ١ش ٠غزؼفف أ جبد ثض٠خ زجش ( " غ١ش

Amakulu: {n'abakyala abatudde nga (beekumye mye, abakuze)

abo abatakyasuubira kufumbirwa, ssi kibi okujjamu engoye

zaabwe (ez'okungulu0 kyokka nga tebajaajaala na

byakwenyiriza. Bwebaba nga bassizzaamu ensa, kye kirungi ku

bo. Ne Allah Awulira, Amanyi.}

Obusiraamu bwalagira okukkakkanya amaaso kwebyo

ebitakkirizibwa kutunuulira, mwekyo mulimu okwewala ebyo

ebiyinza okuvaamu okusukka eddaala ly'okutunula okutaliimu

kirowoozo nekituuka ku kutunuulira n'obwagazi, n'oluvannyuma

12) Essuula ahzaab: 59

13) Essuula annuuru: 60

nekireeta ebirowoozo ebikyamu, n'okumalirira okukolwa ekibi.

Allah agamba nti:

ا ره أصو ٠ذفظا فشج أثظبس ا ٠غؼ ١ ئ ب " ل خج١ش ث للا

( ٠ظؼ ال ٠جذ٠ فشج ٠ذفظ أثظبس بد ٠غؼؼ ئ ل )

ب " ب ظش اال ص٠ز

Amakulu: {Gamba abakiriza abasajja bakkakkanye ku maaso

gaabwe. Ekyo kyekisinga obulungi gye bali. Mazima Allah

Mukenkufu mw'ebyo byebakola.}

Ibun Kayyimu Allah amusaasire yagamba nti: era nga

bwekibeera nti ensibuko y'ekibi eva ku kutunula, ekiragiro

ky'okukuuma amaaso kyekyasooka eky'okukuuma obwereere,

ebibi byonna ebikolebwa bitandika nakutunula, era nga bwekiri

nti omuliro ogusinga obungi entandikwa yagwo kubeera

kwakirira okutono, ekisooka kwekutunula, oluvannyuma

ekirowoozo, oluvannyuma kwekukuba oluta (okusembera)

n'ekisembayo kwekukola ekibi. Y'ensonga lwaki kigambibwa

nti: omuntu akuuma ebintu bino ebina (4), abeera ataasizza

(akuumye)eddiini ye. Okutunula, ebirowoozo, ebigambo

n'ebikolwa.15

Engeri gyekiri nti amaaso gagwa kwebyo ebyaziyizibwa mu

butanwa, n'olwekyo ekigaanibwa kwekukaliriza amaaso

(okuddirinngana okutunula), Omubaka okusaasira n'emirembe

bibeere ku ye yagamba Ali Ibun Abiitwalib Allah amusaasire nti:

" owange Ali, togobereza eriiso ku liiso, mazima tovunaanibwa

liiso lisooka naye eriddako likuvunaanibwa."Mustadrak 2788,

Albaan yagigilora.

N'olwokufaayo kw'obusiraamu mu kukubiriza abagoberezi

baabwo okukuuma amaaso obutagatunuulizabyaziyizibwa,

14) Essuula Annuuru: (30 -31)

15) okuddibwamu okumala eri abuuza eddagala eriwonya/ 162 ( اجاة اىبف

7 عؤي ػ اذاء اشبف ص )

Omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yatubuulira

ekikolebwa singa omuntu atya Allah akuba eriiso ku haraamu,

Jariiri bun Abdallah yagamba nti: nnabuuza omubaka wa Allah

okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye ku liiso

ly'otagenderedde, nagamba nti: " jjayo eriiso". Swahiih abi

dawuda.

Obusiraamu bulagira okusaba nga tonnaba kuyingira,

olw'okutya amaaso okugwa kwebyo ebyaziyizibwa okutunuulira.

Allah agamba nti:

ذ ٠جغا ا از٠ بى ىذ أ٠ از٠ ى ا ١غزؤر آ صالس " ٠ب أ٠ب از٠ ى

فج طالح ا لج اد ش ؼشبء ثؼذ طالح ا ١شح اظ ص١بثى رؼؼ د١ ش

ػ ثؼؼى ػ١ى اف ؽ جبح ثؼذ ال ػ١ ١ظ ػ١ى ساد ى صالس ػ

ا٠٢بد ى للا )ثؼغ وزه ٠ج١ دى١ ػ١ للا 8 " )

Amakulu nti: {Abange mmwe abakkiriza! Bateekwa babasabe

okuyingira (gyemuli) abo begyafuna emikono gyammwe egya

ddyo (abaddu n'abazaana) n'abo abatannatuusa kiseera kya

bukulu, mu mmwe (abaana), emirundi esatu (mu biseera bisatu):

olubyeryeberye lw'esswala y'okumakya (Alfajiri), n'ekiseera we

muggiramu engoye zammwe mu ttuntu, n'oluvannyuma

lw'esswala y'ekiro (Isha). B'ebiseera byammwe ebisatu mwe

mweyambulira. Temulina kibi wadde bo oluvannyuma lw'ebyo

okuyingira nga tebeeyanjudde, beetooloola abamu ku mmwe ku

bannaabwe. Bwe kityo Allah bwannyonnyola obubonero Bwe.

Era Allah Mumanyi, Mukakasa.}

Era Allah agamba nti:

لج از٠ ب اعزؤر ١غزؤرا و ف ذ ا ى ارا ثغ الؽفبي " ى للا وزه ٠ج١( دى١ ػ١ للا ( " 9آ٠بر

7

Amakulu: {Abaana abato mu mmwe bwe babeera batuusizza

obukulu, olwo bateekwa basebe okukkirizibwa (okuyingira ere

16) Essuula annuuru: 58

17) Essuula annuuru: 59

abakulu) nga bwebasaba abo abakulembedde. Bwe kityo Allah

bwannyonnyola amateeka Ge. Era Allah Mumanyi, Mukakasa}

Obusiraamu bwaziyiza abasajja okwefaananyiriza

abakazi, n'abakazi okwefaananyiriza abasajja, Hadith nga eva ku

Ibun Abbaas Allah asiime ku bo bombiriri (ye nekitaawe)

agamba nti: omubaka wa Allah okusaasira kwa Allah

n'emirembe bibeere ku ye yakolimira abasajja abeefaananyiriza

abakazi, nabwekityo abakazi abeefaananyiriza abasajja." Bukhari

(5546)

Obusiraamu bwaziyiza okulaba ebyo ebipaaluusa

obwagazi mu bwerere bw'abakazi n'abasajja ku njuyi zombi

(omukazi n'omusajja), nabwekityo okutunuulira ebimansulo

(ebifananyi byabakazi abali obukunya). Hadith nga eva ku

AbduRrahman bun Abii said Alkhuduriyyi anyumya nga ajja ku

kitaawe nti mazima omubaka wa Allah okusaasira kwa Allah

n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " tatunuuliranga

omusajja obwerere bwa musajja munne, nabwekityo omukazi

tatunuuliranga obwerere bwa mukazi munne. Era omusasajja

teyeebikkanga kikunta kimu ne musajjamunne nga bali bukunya.

Nabwekityo omukazi teyeebikkanga mu kikunta kimu ne

mukazimunne nga bali bukunya." Musilimu (338).

Obusiraamu bwaziyiza okuwuliriza ebyo ebiyinza

okulinnyisa obwagazi wakati w'abasajja n'abakazi, okugeza nga

ennyimba ezirimu okuwemula n'ebizifaanana, olw'ensonga nti

ebintu ebyo biteekateeka ebirowoozo by'abantu okukola ekibi,

era bikubiriza abantu okukola ebikyamu, mubutuufu baayogera

mazima abamanyi abaasooka, bwebagereesa ku nnyimba

ezirinnyisa obwagazi wakati w'abasajja n'abakazi, nti: (kusabirira

bwenzi.)

Era obusiraamu bwaziyiza okutuula n'omuvubuka embula

kalevu n'okumukandalirizaako amaaso naddala nga talina bwoya

ku mubiri, kubanga omubiri gwe olw'obulungibwe guyinza

okufaanana ogw'abakazi.Hadith nga eva ku Abu Huraira nga

agijja ku Nnabbi okusaasira kwa Allah n'emirembe bibeere ku ye

yagamba nti: ". . . n'amaaso okwenda kwago kutunula, n'amatu

okwenda kwago kuwulira, n'olulimi okwenda kwalwo kwogera,

n'omukono okwenda kwagwo kukwata, n'amagulu okwenda

kwago kutambula, n'omutima gwagala era gwegomba, wabula

obwerere bwebukakasa ebyo byonna oba

nebubirimbisa(nebubiwakanya). Musilimu (2657)

Obusiraamu bwaziyiza omusajja okweyawula n'omukala

gwatalinaako kakwate, olw'ensonga nti kireetera sitaane

okubakema okugwa mu bwenzi. Agamba omubaka okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye nti: " era omu mummwe tayinza

kweyawula n'amukazi okujjako sitaane ebeera ya kusatu . . ."

Ibun Hibbaan (4576).

Era nga bwebwaziyiza abasajja okwetabika n'abakazi olw'ebyo

ebivaamu mu kusemberegana okwaziyizibwa, kubanga buli

kyonna ekituusa omuntu ku haraamu kibeera haraamu.

Omusomesa Muhammad Kutwubu agamba nti: okwetabika

okwo wakati wabasajja n'abakazi mawanika manene nnyo

abazungu gebaaleeta, kwebettanira mu ngeri y'okwagala

okumalawo okwekomomma wakati wabakazi n'abasajja, wabula

ate abakenkufu mu kumanya ebikwata ku mbeera z'abantu,

nempangaala yaabwe bakuliriza nnyo emigaso gy'okwetabika

egyo gyebeegattako, n'obulungi bwakwo okutwaliza awamu,

naye abazungu bwebamala nebaddako emabega nebalowooza

kubiki ebivaamu, kati olwaleerotebakyakikuliriza nnyo nga

bwekyali mu kusooka oluvannyuma lw'okutegeera emize

gy'okwetabika egitalinaamu kubuusabuusa. . . wabula

abakenkufu mu biyungo by'abantu n'abasawo baddirira okuva

kundowooza yaabwe eyasooka kunsonga y'okwetabika

etambulizibwa ku mimwa gy'abantu okugeza nga okuzinira ku

bidongo by'ennyimba, n'emukunywamu kakyayi, n'okulambula

okulimu okweyawula nga byesigamye kukulondoolwa

kw'abazadde, oba abasomesa, olwaleero bagamba nti:

okwetabika kwonna wakati w'abasajja n'abakazi bipaaluusa

obwagazi, so tebibukendeeza nga bwekigereesebwa. Bwekibeera

nga ekigaana abaana bano okutuukiriza kyebaagala

masonyisonyi lwakuba waliwo ababalabaku mikolo gino, naye

nga mubutuufu babeera basigadde bayala, era ekyo kisigala

kibabobbya emitwe oluvannyuma lw'okuvaayo. Era ekyo kireeta

emu ku nsonga ebbiri; esooka: abavubuka bano okunonyaayo

akafo akalala akeekusifu gyebamalira ebyabwe awatali abalaba,

oba okusigala mu mbeera eyakanyigo eyo eyinza n'okulwaza

emibiri gyabwe. Ekyebuuzibwa kiri nti: awo ddala babeera

bafunyeemu ki?

Era obusiraamu bwagaana omukazi okutendera bba

obulungi bw'omukazi omulala, olw'okwewaza abasajja

okutamwa bakyala baabwe, oba okwegomba abalala olw'ebyo

ebitendo byebalina, nga ate abaabwe tebabirina, oba ssi kyo

sitaane okubakema nebakwana abakazi abo. Hadith nga eva ku

Abdullah bun Mas-uudi agamba nti: yagamba omubaka wa Allah

okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: "omukazi talabanga ku

mukazi munne ekintu (ekisikiriza abasajja), oluvannyuma

n'akitendera bba nga alinga amurabirako ddala."Ibun hibbaani

(4160).

Obusiraamu bwaziyiza abakazi okufuluma nga beetadde,

gamba ng'okufuluma nga beekubye obuwoowo, oba nga

beekozeeko ate nga tebeebikkiridde, kubanga ekyo kibaleetera

okutunuulirwa ba kalimululu, mpozzi n'okulalula abasajja,

n'ebeera ensonga okugwa mu bwenzi, Nnabbi okusaasira kwa

Allaha n'emirembe bibeere ku ye kyava agamba nti: "omukyala

yenna bweyekuba akowoowo oluvannyuma n'afuluma, nayita

kukibinja ky'abasajja batere bawunyirize akawoowooke, abeera

mwenzi." Swahiih Ibun Hibbaan.

Era nga bwebwagaana abakyala okwogeza ebirimi, okugonza

n'okweyogeza okusikiriza abasajja. Okwo nno okugaana

kwakwetaangira obutakwanibwa abo abalina ekirwadde

ky'obwenzi mu mitima gyabwe, omukyala ateekeddwa

okw'ogera wekyetaagisizza ate nga tawunda ddoboozirye wadde

okwogerayogera ewateetaagisa. Allah agamba nti:

ؼشفب ) ال ل ل شع ج غ از ف ل ي ف١ط م ثب "( " فال رخؼؼ8

Amakulu: {…………. Temwegonzagonzanga (nemutta

amaloboozi) mu kwogera nalulunkana oyo alina obulwadde mu

mutima gwe, n'olw'ekyo mwogerenga ekigambo

eky'obuntubulamu} (32)

Era agamba nti:

لث أؽش مثى ساء دجبة رى زبػب فبعؤ ز ارا عؤ " "9

Amakulu: {………Bwe muba nga mubasabye abakyala (ba

nnabbi) ekintu (kyonna), mubasabirenga emabega w'ekisiikiliza

(wakati wamwe nabo). Ekyo nno kye kisinga okutukuza emitima

gyammwe n'emitima gyabwe ………….} (53)

era obusiraamu bwaziyiza enkunamyo. Allah agamba nti:

س٠ آرى اس ع جبعب ٠ ب ػ١ى ض لذ أ ره خ١ش ره " ٠ب ث آد جبط ازم شب

( ٠زوش ؼ آ٠بد للا " )

Amakulu: {Abange Abaana ba Adamu! Mazima twabassiza

mmwe ebyambalo ebibikka obwereere bwammwe, n'ebyambalo

ebibanyiriza, naye ekyambalo ky'okutya Allah kye kisingira

ddala obulungi. Ekyo kya mu Bubonero bwa Allah, oba olyawo

ne bajjukira} (26)

Mu Hadithi nga eva ku Abu Huraira yagamba nti Omubaka wa

Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: "

abantu bamirundi ebiriri baakuyingira muliro, ssinnabalabako;

abantu abatambula n'emiggo emiwanvu egiriko emboobo nga

emboobo z'ente, nga bagikubisa abantu (abaserikale abakubira

18(Essuula Ahzaabu: 32

19) Essuula Ahzaabu: 53

20) Essuula A-araaf: 26

abantu obwerere), n'abakazi abayambala nga tebambadde,

batambula benyiga (bagooma) emitwe gyabwe giringa amabango

g'enngamiya ssibakuyingira jjana era tebaliwunyiriza kawoowo

kaayo, mazima akawoowo kaayo katuuka mu buwanvu bwebuti

nebwebuti". Musilimu (2128).

Era obusiraamu bwannyonyola baani omukyala bakkirizibwa

okwoleseza eby'okwewundabye, era be b'olugandabe ab'okumpi.

Allah agamba nti:

ال ٠جذ٠ ػ ج١ث ش ثخ ١ؼشث ب ب ظش اال ص٠ز ال ٠جذ٠ "

أثبء ثؼ أ أثبئ أ آثبء ثؼز أ آثبئ أ اال جؼز ص٠ز ا اخ أ ز

غ١ ازبثؼ١ أ ب ىذ أ٠ ب أ غبئ أ ار ث أخ أ ا ث اخ ش أ أ

ساد اغ ٠ظشا ػ ػ از٠ اطف جبي أ اش سثخ اإل ال ٠ؼشث بء

ؼى ئ ١ؼب أ٠ ا ج رثا ا للا ص٠ز ب ٠خف١ ١ؼ " ثؤسج رفذ

Amakulu: {.. era teboolesanga eby'okwenyiriza kwabwe

okujjako ku babbaabwe, oba ku bakitaabwe, oba ku bassezaala

baabwe, oba batabani baabwe, obabatabani ba babbaabwe, oba

bannyinaabwe, oba abaana ba baganda baabwe, oba bakazi

bannaabwe (abasiraamu)oba abo (abazaana) emikono gyabwe

egya ddyo begyafuna, oba abo mu basajja abagoberera

(ng'abaweereza) abatalina bwetaavu (eri bakazi) oba abaana

abato abo abatalabanga ku bwereere bwa bakazi. Era tebaggunda

nga wansi magulu gaabwe ku lw'okumanyisa ebyo ebyo

ebikusibwa mu byokwenyiriza kwabwe. Era mwenenye eri

Allah, abange mmwe abakkiriza oba olyawo ne mulokoka.}

Obusiraamu bwaziyiza omukyala okutambula yekka nga talina

musajja wakumpi amuwerekedde nga bba, kitaawe, mwanyina,

oba ow'okumpi amuzira okuwasa mu busiraamu, olw'ekigambo

kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti:

omusajja yenna teyeyawulanga n'omukazi atamuzira kuwasa, era

21) Essuula Annuru: 31

omukazi tatambulanga olugendo okujjako nga alina

amuwerekedde amuzira okuwasa" omusajja omu naabuuza nti:

owange omubaka wa Allah nnawandikiddwa mulutabaalo

bweluti ne nebweluti, ate mukyala wange agenda ku kukola

Hijja. Nnabbi nagamba nti: "werekera mukyalawo okole naye

Hijja ". Bukhari (2844)

Obusiraamu okukola ekyo bwagala okukuuma ekitiibwa

ky'omukazi, n'okumutaasa, kubanga engendo ezisinga zibeeramu

obuzibu n'okukaluubirizibwa, ate nga omukyala mu butondebwe

omubirigwe munafu, ol'wensonga zafuna okugeza nga haidhwi,

embuton'okuyonsa. Eran'omutimagwe nagwo munafu kubanga

agondera mangu ekyo omutima gwe kyegwagala n'ebigwawo mu

bulamu bwe, era akosebwa mangu ebyo ebimwetoolodde.

N'olwensonga eyo, omukyala yeetaaga ayinza okumutaasa

abantu eb'emitima emibi abo abayinza okwagala okukozesa

akakisa ako okutwala ebibye nga emmaali, oba ekitiibwakye, ate

nga bambi mubiseera ebisinga tasobola kwelwanako

olw'obunafu bw'omubiri gwe. Era yeetaaga omusajja ayinza

okubeerawo kululwe, okumuweereza byayagala, okumumalira

obwetaavu bwe, n'okukola kunsonga ze, n'okumwanguyiza mu

buli kimu, era omusajja yenna ow'okumpi eri omukazi yenna

alagirwa okumukolera ebintu ebyo kireme kumwetaagisa

musajja atamuzira kubimukolera.

Era obusiraamu bulagira oyo yenna alabye omukazi

n'amwegomba agende amalire ekyetaago kye kumukyalawe,

mwekyo mulimu okukkusaa obwagazi mu makubo

agakkirizibwa, n'okuggala amakubo g'okubuzaabuzibwa

n'okukemebwa sitaane, Agamba omubaka okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye nti: "..omu mu mmwe abeera

atunuulidde omukazi (n'afuna obwagazi) agende amale

ekyetaago kye eri mukyala we, ekyo kijja kusangula ekyo

kyafunye mu mutimagwe". Musilimu (1403).

Obusiraamu bulagira abafumbo buli omu amalire

munne obwetaavubwe singa abeera ayagadde okwesanyusaamu

n'akaboozi k'ekikulu, era nebuziyiza omukazi obutayanukula bba

singa amwetaaze munsonga z'obufumbo, olw'ensonga nti ekyo

kiyinza okuleetera omusajja okwegomba okumalira ekyetaago

kye ebweru w'obufumbo, oba ssi ekyo okumuleetera endwadde

eziva mu kutuga obwagazibwe, okugeza nga endwadde

z'omutima, oba ez'omubiri. Y'ensonga lwaki obusiraamu

bwalemera nnyo kunsonga eno, okutuusa nti Nnabbi okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: " omusajja bwayita

mukyala we okulinnya ekitanda (omukyala) naagaana naatajja,

(omusajja) naasula nga amunyigidde, malayika zikolimira

omukazi oyo mpaka obudde bwebunaakya." Musilimu (1436)

N'omusajja naye bwatyo, kimukakatako okutuukiriza obwetaavu

bwa mukyalawe mbagirawo ensolo nga tennakutula muguwa,

omukyala aleme kulowooza kwekkusiza bweru wa bufumbo.

Ibun Hazim agamba nti: omusajja kimukakatako okwegatta ne

mukyalawe, nga n'ekisembayo obutono yeegatte naye omulundi

gumu buli lutukula (okutukula kw'omukyala okuva munsongaze

eza buli mwezi). N'obujulizi kwekyo ky'ekigambo kya Allah

ekigamba nti:

" للا شو د١ش أ فؤر " فبرا رطش

Amakulu: {………Bwe babeeranga batukudde (ne banaaba,

olwo) mugendenga gye bali mu kifo awo Allah we yabakkiriza

(mwegattanga nabo emberi waabwe, sso ssi mabega)}

Era kitumalira okumanya nti omukyala waddembe okukuba bba

mu mbuga z'amateeka singa abeera tamuwadde kyeyetaaga mu

kaboozi k'ekikulu, omulamuzi amubanjize ebyetaagoobye.

Obusiraamu bukola ekyo kukuuma mirembe mu bantu

obwonoonefu buleme kusasaana.

22) Essuula Albakara: 222

Allah yeewerera abo abaagala obw'onoonefu

okusaasaana mu bitundu by'abasiraamu okubabonereza

n'ebibonerezo ebinene ennyo. Allaha agamba nti:

فبدش رش١غ ا أ ٠ذج از٠ ا٢خشح "ا ١ب ف اذ ػزاة أ١ ا آ خ ف از٠

" ال رؼ ز أ ٠ؼ للا

Amakulu: {Mazima abo abaagala okubunyisa eby'obuwemu

mw'abo abakkiriza, balina ebibonyobonyo ebiruma, mu nsi ne

mubulamu bw'enkomerero. Era Allah y'Amanyi nammwe

temumnayi.}

Ate kiri kitya kwoyo akola obwonoonefu mu bakkiriza oba

ayamba, oba akola enteekateka y'okubusaasanya mubakkiriza,

oba oyo ayamba okusaasaana kwabo?!

Obusiraamu tebukkiriza kukkusa bwagazi okujjako nga omuntu

akozesezza kkubo ly'obufumbo, olw'ensonga nti Allah tayagala

bantu babeere nga bisolo kumala byetaago byabyo nga

tebyefiirayo, era teyaleka musajja na mukazi kukwatagana

wabweru wa mateeka, wabula Allah yabateerawo enkola

ennunngamu akulembere ebisigadde, era mu nkolaeyo mwemuli

okukuuma ekitiibwa kye, era Allah yafuula enkwatagana

y'omusajja n'omukazi nga yakitiibwa era ezimbiddwa ku

kusiimagana mbombiriri, era buli omu alina okulaga okusiima

munne mu bigambo (asabwa n'akkiriza), gattako okujuliza

(abajulizi babiri) nti buli omu kubombiriri afuuse wa munne.

N'olwekyo Allah yateerawoobwagazi ekubo ery'emirembe,

n'akuuma endyo obutabula, n'ataasa omukazi obutafuuka muddo

gwa ku kkubo nti buli mulunzi aliisaako ensolo ze, n'ateekawo

ettofaali ly'amaka ageetooloddwa omukwano gwa maama,

23) Essuula Annuuru: 19

negalabirirwa ekisa kya taata olwo negakula bulungi era negassa

ebirimba ebyeyagaza. Enkola eyo Allah gyeyasiimira abantu, era

kweyazimbira obusiraamu n'amenyawo ebirala byonna.24

Oba olyawo kyetaagisa wano mu bufunze okulaga ezimu ku

mpenda obusiraamu zebwateekerateekera obufumbo, era

tugamba nga tusaba Allah atukwatireko nti;

Mazima obusiraamu bulina enkola mu kulonda omukyala

ow'okuwasa, so si kumala bumazi kyetaago wabula obufumbo

y'ensigo y'okuzimba amaka. Yensonga lwaki obusiraamu

bukubiriza okulonda omukyala oyo anaawangaaza enkolagana

mu bufumbo, n'okuzimba amaka amalongoofu agalimu empisa

ne ddiini, amaka ago agatya Allah, era agasobola okutuukiriza

obuvunanyizibwa bw'abwe Allah bweyabakwasa nga

tebalagajjalidde nsonda yonna, okugeza nga obulungi

bw'omukyala n'ebirala mu bitendo ebisikiriza abasajja. Allah

agamba nti:

ى ىذا ال٠ب أ " للا ٠ىا فمشاء ٠غ ا بئى ا ػجبدو بذ١ اظ ( اعغ ػ١ للا ("فؼ

Amakulu: {Mufumbize ab'obusa mu mmwe n'abalongoofu mu

baddu bammwe, n'abazaana bammwe, bwebabeera nga baavu,

Allah ajja kubagaggawaza mu bulungi bwe, mazima Allah

Mugazi era Mumanyi.}

Era Nnabbi yasomesa ensonga ezisikiriza abasajja okuwasa,

wabula n'asimba essira ku nsonga enkulu era ewangaala nga

bwetuyogeddeko mu kusooka nga bwe bulongoofu bw'omukyala

24(Fikihu ssunna 2/7 Sheikh Sayyid Saabik

25) essuula Annuuru: 32

n'eddiini ye. Yagamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere

ku ye nti: " omukazi awasibwa lwansonga nnya (4), olw'emmaali

ye, n'ekitiibwakye (olulyolwe), n'obulungibwe, n'eddiiniye, naye

wewangulire munnaddiini weefunire emikisa gyonna."Bukhari

(4802)

Obusiraamu mwekyo bwagala omwami mu maka abeere oyo

Nnabbi gweyayogerako n'agamba nti: " omukkiriza asinga

obujjuvu yooyo asinga empisa, era abasinga mwe obulungi

yooyo asinga obulungi eri bakyala be." Swahiihi Ibun Hibbaan

(4176)

Era bwagala n'omukyala abeere oyo Nnabbi gweyayogerako

bweyabuuzibwa nti:" mukyala ki asinga obulungi? Yagamba nti:

" oyo asanyusa bba ng'amutunuulidde, n'amugondera

ng'amulagidde, era na'tamuwakanya kwebyo ebimukwatako

wadde mu mmaaliye ebyo (bba) byatayagala." Ir-waau algaliili

(1786) hadith nnungi.

Obusiraamu bwagala ennyumba ensiraamu, eyo ezimba ekibiina

ekisiraamu, omuli okwelaamira ebirungi n'okubikubiriza, ekyo

Nnabbi kyeyayogerako mukigambo kye nti: " Allah asaasire

omusajja asituka ekiro n'asaala n'azuukusa mukyala we,

bw'alema n'amusammuliza amazzi mu kyenyi, era Allah asaasire

omukyala oyo asituka ekiro okusaala n'azuukusa bba, bwagaana

n'asamusammuliza mu kyenyiamazzi." Ibun Huzaimat (1148)

Obusiraamu buluubirira okusiba obufumbo obutakutulwa

kifundikwa kyabwo, kubanga eddiini n'empisa bwebibeera nga

ky'ekikulu mu kulonda omubeezi, wabula tebwaziimuula

ndabika yooyo gwolonda okubeera omubeezi. Abafumbo bombi

basalawo okufumbirigana oluvannyuma lwa buli omu okumatira

munne mundabika. Obusiraamu bwakkiriza buli omu

kubaagalana okulaba ku munne nga tebannafumbirigana, ono

omubaka wa Allah omusajja omu yamujjira n'amugamba nti

yayogerezza omukazi okuva ba An-swaar, Nnabbi n'amubuuza

nti: " wamulabyeko? Nagamba nti: nedda, Nnabbi n'amugamba

nti: " genda omulabeko mazima amaaso ga ba an-swaarigalimu

akantu." (ategeeza nti amaaso gabwe matono).

Era omubaka yasomesa ekyama ekiri mu kulaba ku mukazi

gwoyogereza. Hadithi nga eva ku Anasi yagamba nti, mazima

Mugiira Bun Shu-uba yayogereza omukazi, Nnabbi n'amugamba

nti: " genda omulabeko, ekyo kyekisinga obulungi okuwangaaza

obufumbo bwammwe." Ibun Hibbani (4043).

Obusiraamu bubeere obulamu bw'abantu obulongoofu,

bubateeke wala nnyo olw'okwagala kwa Allah kubizibu n'emize

egiwangaalira mu bantu, nga bwekiri ntiomukwano kintu

kyabutonde mu busiraamu – okwagalana wakati w'omusajja

n'omukazi – walina okusigalawo okwagalana okuataliimu

bwonoonefu, omuntu yeeziyize nakwo obuswavu

n'obunyoomeefu bw'obwenzi, era obusiraamu butulaga ekkubo

ly'okubunyweza n'okubuwangaaza, Nnabbi okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: " tewalabwangayo

(kirungi kisinga) abaagalanaababiri singa bafumbirigana."

Swahiihu aljaami-u (5200).26

Wabula era obusiraamu bukubiriza okuwolereza okugatta wakati

wabagalana singa babeera abolongoofu, n'okubasaasira mu

kuteekamu amaanyi agasoboka okubagatta mu bufumbo, Ibun

Abbaas anyumya nti: bba wa Bariirat yali muddu nga ayitibwa

Mugiithu, ninga amulaba kati nga yeetooloola emabega wa

Bariirat nga bw'akaaba, amaziga nga gakulukuta ku kirevu kye,

26) kitegeeza nti singa omsajja n'omukazi baagalana, ekisinga obulungi

gyebali era nga kyekijjanjaba obulwadde mu mitima gyabwe

kwekufumbiriganwa.

Nnabbi nagamba Abbaasi: " teweewunya okwagala

Mugithikwayagala Bariirat, n'obukyayi Bariirat bwalina eri

Mugithi? Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba

Bariirat, singa omuddiramu." (Bariirat) nagamba nti: owange

omubaka wa Allah, ondagira (nkikole kugondera ggwe)?

Naddamu nti: "(nedda) nze mpolereza buwolereza." Nagamba

nti: ssimuliinamu bwetaavu." Bukhari (4979)

Era bukubiriza omuntu okwanjulira muwalawe oba omuzaanawe

abasajja abalongoofu bamuwase, naye oluvannyuma lw'okusiima

kw'omuwala n'okukkiriza okumufumbirwa. Kubanga alina

obuvunanyizibwa ku muzaana abeera afaayo nnyo ku ye. Era

okukola ekyo temuli kamogo wadde obukendeevu bwonna.

Allah agamba nga anyumya ekyafaayo kya Nnabbi Musa nti:

شأر١ ا د جذ ابط ٠غم خ أ جذ ػ١ ذ٠ بء سد ب "

أثب ش١خ وج١ش ) ػبء ب لبزب ال غم دز ٠ظذس اش ب خطجى لبي م ( فغ رزدا

خ١ش فم١ش ) ذ ا ض ب أ فمبي سة ا ا اظ ر ب ص ( فجبءر

ب جبء ب عم١ذ ب ف أث ٠ذػن ١جض٠ه أجش ش ػ اعزذ١بء لبذ ا ب ر ادذا

ل ( ١ اظب م ا د مظض لبي ال رخف ج ا ب ٠ب ض ػ١ ( لبذ ادذا

( ١ ال م اعزؤجشد ا خ١ش ىذه ادذ أثذ اعزؤجش ا أ ( لبي ا أس٠ذ أ

ػ بر١ اثز ب أس٠ذ أ ذن ػ ذ ػششا ف أر دجج فب ب رؤجش ص أ

( بذ١ اظ شبء للا 7أشك ػ١ه عزجذ ا ب الج١ ث١ه أ٠ ( لبي ره ث١

ػ ا ) لؼ١ذ فال ػذ و١ ب مي ػ للا 8" )7

Amakulu: {Bwe yamala okutuuka (awakimwa n'okunyweseza

ensolo) ku mazzi g'e Madiyana n'asangako ekibiina ky'abasajja

nga banywesa (amagana g'embuzizaabwe), era n'asanga (awo

kumabbali) abakazi babiri abatali (abo abanywesa) nga batangira

(embuzi zaabwe obuteegatta mu za basajja abo). (Musa)

n'abagamba nti: Ngeri ki mmwe (Lwaki mmwe muziyiza

ezzamwe)? Ne bamugamba nti: Tetuyinza kunywesa (zaffe)

okutuusa abalunzi lwe bamala (okunywesa ezaabwe ne

baziggyawo, olwo naffe ne tunywesa). Ne kitaffe, mukadde

27) Essuula alkaswasi: 27

mukulu (23). Kale (Musa) n'abanyweseza (ensolo zaabwe) bwe

yamala n'akyuka okudda eri ekisikirize (awummule) olwo

n'agamba nti: Mukama wange! Mazima nze (nsiima) ekyo

kyonna ky'onooba onzisilizza mu bulungi ku lw'obwavu

(24).(Oluvannyumako katono) n'amujjira omuwala omu ku

bombi (abo be yanyweseza ensolo zaabwe), nga atambula

(agenda w'ali) n'ensonyi. N'agamba nti: Mazima kitange akuyita

okukusasula empeera olw'okutunyweseza (embuzi zaffe).

(Musa) bwe yamala okumujjira (kitaawe w'abawala)

n'amunyumiza ekyafaayo (kye kyonna), n'amugamba nti: Totya

owonye! Owonye mu kibiina ky'abalyazaamaanyi

(25).(Omuwala) o,u ku bombiriri n'agamba: Owange kitange!

Mukozese (abeereomulunzi mu kifo kyaffe). Mazima omulungi

oyo (asaanye okukozesa) ye (musajja) ow'amanyi omwesigwa

(26). (Swaibu, kitaawe w'abawala) n'amugamba nti: Mazima nze

njagala okukufumbiza omu ku bawala bange abo bombi

(n'akakalu)ak'okuba nga onkolera (okumala) emyaka munaana.

Naye bw'onooba ojjuzizza ekkumi ekyo kinaava gy'oli, era

saagala kukuzitooyereza. Ojja kunsanga, Allah bwanaaba

ayagadde (nga ndi) mu balongoofu (abakolaganika nabo) (27).

(Musa) n'agamba nti: Ekyo kiri wakati wange naawe. Ekimu ku

biseera (by'endagaano ebyo) ebibiri kye naamala, tewaabe

kunnumbagana, ne Allah ye Mujulizi kw'ebyo bye twogera

(28).}

Era mu hadith eva ku Salimu bun Abdillah bun Umaru Allah

asiime ku bo bombiriri (Umaru ne Abdallah) yagamba: Hafswa

bweyafiirwako bba eyali ayitibwa khunaisi bun Huzhafa

Assahaamiyyi e Madiina, eyali omu ku bagoberezi ba Nnabbi

okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, Umaru yagamba nti: najja

ewa Uthman bun Affani nemmwanjulira okuwasa Hafswa

nagamba nti: njakwetunulamu ndabe. Newayita ebiro,

oluvannyuma nasisinkana nanngamba nti: nnalabye nga sijja

kuwasa kati, Umaru agamba nti: nensisinkana Abubakar

nemmugamba nti; wetaaga okuwasa nkuwe muwala wange

Hafswa, Abubakar n'asirika n'atanziramu kigambo kyonna.

Nennakuwala nnyo olw'ekyo Abubakar kyeyakola n'okusinga

bwennanakuwala kulwa Uthumani, nemmala ebiro nga biibyo

Nnabbi n'amwogereza nemmumuwa, oluvannyuma Abubakar

yansanga nangamba; nkimanyi wanakuwala nnyo kulwange

ekiseera bwewannyanjulira Hafswa okumuwasa nessikuddamu?

Umaru agamba nti: nenziramu nti yye kituufu. Abubakar

nagamba nti: sakuddira wadde okukuddamu ekyo kyewasaba

okujjako nti nnali nnawulidde Nnabbi nga ayogera kukuwasa

Hafswa, naye nnali ssisobola kulaalaasa kyama kya Nnabbi

okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, naye singa Nnabbi

yamuleka nnandikkiriza okumuwasa." Bukhari (4830).

Mu mpagi z'okuwasa mu busiraamu n'obulombolombo obutuusa

obufumbo mulimu;

1. Okusiimagana n'okukkiriziganya kw'abafumbirwa ababiri, olw'ekigambo kya Nnabbi okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye nti: " tafumbizibwa omukazi

eyafumbirwako okutuusa nga asabiddwa olukusa, ate omuwala

emberera tafumbizibwa okujjako nga yeebuuziddwako."

Nebagamba nti: okukkiriza kwe kubeera kutya? Nagamba nti: "

bwasirika." (kubanga abawala abato batya okwatula nti

bakkirizza, so nga tebatya kwolesa kugaana kwabwe.) Bukhari

(4843)

Era omukazi yenna afumbiziddwa nga tasiimye alina eddembe

okusaba okusazibwamu kw'obufumbo olwa hadithi ya Khanisa

bint Juzaam al-answariyya elambika nti kitaawe yamufumbiza

oluvannyumalw'okufumbirwako natasiima musajja, najja ewa

Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, Nnabbi

n'asazaamu obufumbo obwo." Bukhari (6546).

Ebyo byonna bikwolebwa kulw'okwagala okukuuma amaka

obutasajjuka, nabwekityo okutangira okusasa ana kw'obwenzi

olw'embaliga eziva ku kubulawo kw'omukwano wakati

w'abafumbo ababiri.

2. Era tulina okumanya nti okubeerawo kwa

taata w'omuwala (oba omusajja alina obuvunanyizibwa ku

muwala) n'okukkiriza ke kalombolombo mu bulombolombo

obutuusa obufumbo, olw'ekigambo kya Nnabbi ekigamba nti: "

tewali bufumbo ewatali Taata wa muwala (oba alina

obuvunanyizibwa omulala) n'abazulizi babiri abeesigwa, era

obufumbo bwonna obuzimbiddwa ewatali ebyo bufu, bwebafuna

obutakkanya, omukulembeze y'alina obuvunanyizibwa

kumuwala atalina amuvunanyizibwako." Ibun Hibbaan (4075).

Obusiraamu bukola ekyo okuyunga oluganda obutakutulwa,

kubanga omusajja alina obuvunanyibwa ku muwala yabeera

asinga okumanya n'okufaayo kwebyo ebigasa omuwala oyo,

tayinza kumulonderawo wadde okumugaba okujjako

jeyeekakasa nti gyagenda okufunira emirembe.

Ate mu mbeeray'okubeera nti omuwala talina

amuvunanyizibwako oba nga bamunyigirizza (nebamulemesa

okufumbirwaolw'omulugube) obuvunaanyizibwa budda eri

omukulembeze (w'abasiraamu), olw'ekigambo kya Nnabbi

kyetwogeddeko nti: "…. omukulembeze y'alina

obuvunanyizibwa kumuwala atalina amuvunanyizibwako."

Ibun Abbaas Allah asiime ku ye yagamba nga annyonnyola

ekigambo kya Allah ekigamba nti:

رشصا اغبء وشب أ ى ا ال ٠ذ آ ب )٠ب أ٠ب از٠ ززجا ثجؼغ ال رؼؼ ) آر١ز

8

Amakulu: {Abange mmwe abakkiriza! Temukkirizibwa mmwe

okusikila abakazi (Bannamwandu b'ab'ennganda zammwe)

olw'empaka. Era temubaziyizanga mulyoke mugende n'ebimu

kw'ebyo bye mwabawa, …}

nti: baalinga omusajja bwafa mu bo nga abantu b'omusajja

bebabeera n'obuvunanyizibwa ku mukazi we, ayagala mu bo

amuwasa, oba ssi ekyo bamufumbiza gwebaagadde, oba oluusi

nebatamufumbiza n'abeerawo, nga beebalina

obuvunanyizibwaku ye n'okusinga ab'oluganda be. Ayat eno

nekka okugaana ekyo."Bukhari (4303)

3. Bwebamala okusimagana boombiriri,

omusajja alina okuwa omukazi amahale, kulw'ekigambo kya

Allah ekigamba nti:

فغب فى ء ش ػ ى ؽج ذخ فب آرا اغبء طذلبر ش٠ئب )" ( ١ئب

"9

Amakulu: {Era muwenga abakyala (abo be muwasa) amahare

gaabwe. (Naye bo abakyala bammwe) bwe babanga

balongoosezza emyoyo ku lwammwe ku kintu mw'ebyo bye

mubawadde, mukiryenga bulungi mu ddembe n'essanyu}

Era kisaanira obutaleega mahale, Nnabbi okusaasira n'emirembe

bibeere ku ye yagamba nti: "Mazima ebimu kubiwa omukazi

emikisa, okugonza okwogerezebwakwe, n'amahalege, n'endaaye.

(Allah amugondeza embeera z'olubuto n'okuzaala)." Ahmad,

Albaani n'agogolora mu Ir-waau (1928).

Ku nsonga eyo Umar Bun Khatwab Allah asiime ku ye yagamba

nti:" abange temuleega mahale, mazima singa kyali kyakitiibwa

28) Essuula Annisai:19

29) Essuula Annisai: 3

ku nsi, oba nga kikolwa kya kutya Allah, Muhammad okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye yeyendibakulembedde mu kyo.

Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye teyawaako mukazi

yenna mahare wadde okugaba muwalawe ekisukka awukiya

ekkumi n'ebbiri."Ibun Hibbaani (4620).

Awukiya buzito bwa zzaabu obwenkana guraamu bibiri (200)

- Era obukwakkurizo obuteekebwawo

abafumbo ababiribulina okutuukirizibwa oluvannyuma

lw'okufumbirigana, olw'ekigambo kya Nnabbi kyagamba nti: "

obukwakkurizo obulina okusookebwako okutuukirizibwa

bwebwo kwemuwasiza abakazi (obubaweesa ebbeetu

okwegazanya mu bwerere bwabwe)."Bukhari (2572)

- Olw'okkujjuliriza essanyu n'okweyagala mu

bufumbo, obusiraamu bwalaalika (bwakubiriza okukola) embaga

eyitibweko ab'oluganda n'abemikwano, basobole okulangirira

obufumbo. Hadithi nga eva ku Anasi Allah asiime ku ye

yagamba nti: Abdu Rahmaani bun Aufu yasenguka okujja

emadiinah Nnabbi natta omukago wakati we ne saadi bun

Arrabiia Al-answaariyyi, (saad) namwanjulira okumutemera

kimu kyakubiri ku mmaali ye nebakyala be, AbduRahmaan

namugamba nti: Allah akuteere emikisa mu bakyala bo

n'emmaali yo, wabula nze ndagirira ewali akatale, n'akola

amagoba amatonotono mu mata ag'obuwunga n'omuzigo,

Nnabbi namulaba oluvannyuma lwennaku nga alina obuufu

bw'obuwoowo (bwabagole). Nnabbi nagamba nti: " owange

Abdu Rahmaan mawulire ki? Nagamba nti: owange Omubaka

wa Allah nnawasizza omukazi mu ba an-swaar. Nnabbi

namugamba nti:"wamuwadde ki amahare?" nagamba nti: zzaabu

ey'enkana akasigo (alimu dirhamu ssatu). Nnabbi namugamba

nti: " kola embaga nebwonaabeera oliisizza kabuzi" Bukhari

(3722)

Tetulina kudibuuda mu mbaga, olw'ekigamba kya Allah

ekigamba nti:

س رجز٠شا ) ال رجز " شث اش١طب وب ١بؽ١ اش ا وبا اخ س٠ جز ا ( ا

( " 7وفسا )

Amakulu: {… naye toduubuudanga (emmali yo) oluduubuuda

(26). Mazima abaduubuuzi (okuva edda n'edda) baali baganda ba

sitaane, nga ye sitaane yali (bulijjo) omuwakanyi (atasiima eri)

Mukama we. (27)}

Erakikakata kw'oyo ayitiddwa okugenda ku mbaga okwanukula

okujjako nga alina ekimusonyiyisa, olw'ekigambo ky'omubaka

ekigamba nti: " omu mummwe bwabeera okoowoddwa

okugenda ku mbaga (kyatteeka) agendenga" Bukhari (4878).

Era kirungi oyo azze kumbaga okusabira bannannyini mukolo

edduwa eyava ku Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

egamba nti: " Ayi Allah basonyiwe obasaasire, era obawe

emikisa mwebyo by'obagabiridde" ibun Hibbaani (5299).

Era n'okusabira abagole edduwa eyava ku Nnabbi okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye, egamba nti: "Allah akuwe emikisa,

akusseeko obulungi bungi, era agate wakati wammwe mu

bulungi." Mustadiriku (2745).

Era obusiraamu bwakkiriza okukuba amataali ku mukolo guno,

n'obuyimba omutali bwonoonefu (buwemu) eri abakyala bokka,

okwolesa obufumbo. Olw'ekigamba kya Nnabbi okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye kyeyagamba Aisha Allah asiime ku

ye, omukyala omu bweyawasibwa omusajja mu ba an-swar nti: "

owange Aisha, tewabadde tewabaddeeyo ku buyimba? Mazima

ba an-swaar banyumirwa ennyimba." Bukhar (4867)

30) Essuula Al-isra: 26-27

Kirungi okukwata empola omugole (omukazi)

n'okumubeesabeesa n'obuboozi obumugumya nebumumalako

ekiwuubaalo, mpozzi n'okusembeza enkwatagana wakati

w'omusajja ne mukaziwe. Olw'ekikolwa kya Nnabbi SAW,

anyumya Asmah bint yazid nti: nze nnatonatona Aisha Nnabbi

bweyamuwasa, oluvannyuma nempita Nnabbi amulabeko nga

bwemmutonyetonye, n'ajja n'atuula okumuliraana (Aisha),

ekyanzi ky'amata n'ekireetebwa, (Nnabbi) n'anywako,

oluvannyuma n'akikwasa Aisha, (Aisha) n'akoteka omutwe

olw'ensonyi, Asima agamba nti: nemmugaana (okukwatibwa

olusonyisonyi) nemmugamba nti: kwata ekyanzi okuva mu ngalo

za Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye, n'akikwata

n'anywako. Oluvannyuma Nnabbi n'amugamba nti: kiwe

mukwano gwo. Asima agamba nti: nenngamba nti; Owange

omubaka wa Allah! Ggwe oba okikwata onyweko oluvannyuma

okinkwase n'omukono gwo, (Nnabbi) n'akikwata n'anywako

oluvannyuma n'akinkwasa, n'entuula nenteeka ekyanzi ku

maviivi gange nennywa nga bwenkyetoolooza nsobole

okunywerako Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

wanyweredde, oluvannyuma n'agamba abakazi abaali nange,

nammwe mukwate munyweko. (abakazi) nebamugamba nti:

tetwagala! Nnabbi n'abagamba nti: "temugatta enjala

n'obulimba" Ahmad (27632).

Mazima obusiraamu era nga bwetwayogeddeko mu kusooka

butwala akaboozi k'ekikulu nga obwetaavu obulala bwonna

obwetaaga okumatiza, naye nga tuyita mu makubo

agakkirizibwa, mu kutuukiriza obukwakkurizo n'amateeka.

Bwekibeera nti eyo y'endaba y'obusiraamu ku ensonga eyo, kati

nno obusiraamu bugikubiriza era nebusomesa butya bwebuyinza

okutumatizibwa wakati w'abafumbo. Hadithi nga eva ku Jaabiri

yagamba nti: Nnali ntambulira ku nngamiya yange (naye nga

ebeera) kunkomerero y'ekibinja, Nnabbi okusaasira n'emirembe

bibeere ku ye n'agikubako (omukono), agamba (Jaabir)

oluvannyuma lw'olwo yali etambulira kuntandikwa y'ekibinja

okujjako nga nze njikkakkanyizza. Nnabbi okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye najja nanngamba nti: " enngamiyayo

eyo oginguza omuwendo bweguti nebweguti Allah akusonyiwe

ebyakusobako? Nenngamba nti: njikuwadde buwi owange

omubaka wa Allah. Nakiddirinngana nti: " enngamiyayo eyo

oginguza omuwendo bweguti nebweguti Allah akusonyiwe

ebyakusobako? Nganange bwe mmugamba nti: njikuwadde buwi

owange omubaka wa Allah. Sulaiman Agamba nti: ssimanyi

mirundi Nnabbi gyeyakiddirinngana. Oluvannyuma Nnabbi

n'amubuuza nti: wawasa oluvannyuma lwakitaawo (okufa)?

Agamba: nenziramu nti yye. Nagamba, mberera oba

yafumbirwako? Nemmuddamu nti: yafumbirwako. Nagamba nti:

lwaki tewawasa mbeerera, akuzannyise nga nawe

bwomuzannyisa, akusese nga naawe bw'omusesa."Bukhari ne

Muslim.

Era obusiraamu bwagulumiza okuzannya n'obukwatampola

wakati w'abafumbo, era ebyo bimu ku byongera omukwano

wakati w'abafumbo, Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku

ye agamba nti: " buli kintu kyonna omutali kujjukira Allah

kubeera kwegayaaza, muzannyo, oba bwerabize. Okujjako ebinti

bina; okutambula kw'omuntu wakati w'enkasukaze ebbiri,

n'okutendeka embalaasiye, n'okuzanyiikiriza mukyalwe,

n'okuyiga okuwuga."Annasae ne Twabaraaniyyi

Era nga bwekyetaagisa buli omu ku bafumbo ababiri okufaayo

ennyo kukweyonja n'okuwunya obulungi, n'endabika ennungi,

kubanga ebyo byonna byongera omukwano n'okwagalana mu

maka, era kimalawo okwekanasa wakati waabwe. Olw'ekigambo

kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ekigamba nti:

"… Mazima Allah Mulungi era ayagala birungi (byerere)."

Muslimu (91)

Ne mu Hadithi eva ku Aisha Allah asiime ku ye yagamba nti:

nnakubanga Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

akawoowo akasinga obulungi kw'obwo bwalina okutuusa

bwendaba langi y'akawoowo mu mutwegwe ne mu kirevu kye."

Bukhari (5579)

Era ibun Abbaasi Allah asiime ku ye yagamba nti: " nze

nnewundira mukazi wange nga bwannewundira, era ssaagala

kulekayo kintu kyonna kubyennina okumukolera, kubanga

kiyinza okumuleetera okukendeeza mwebyo byalina

okunkolera., olw'ensonga nti Allah agamba nti:

" ض از ػ١ ثبؼشف "

Amakulu: {Era balina abakyala (bye bavunaana abasajja)

okufaanana nga ebyo ebiri ku bo (abasajja bye babavunaana)

naye nga babikola mu ngeri y'obuntubulamu …} (228)

Okuzanyiikiriza n'okuzannya wakati w'abafumbo ababiri

mulimu;

Okuzannyiikiriza n'okuzannya mu buliri.

- Buli omu akkirizibwa okweyambulira munne,

n'okunyumirwa okwetunuulira buli omu eri munne. Hadithi eva

ku Bahazi bun Hakiimu nga agijja ku kitaawe nga eva ku jjajja

we Allah asiime ku ye yagamba nti; Nnagamba nti owange

Omubaka wa Allah, obwerere bwaffe biki byetubukozesa era

biki byetuleka? Nnabbi nagamba nti: " kuuma obwerere bwo

okujjako ku mukyalawo oba omuzaana wo." Nenngamba nti:

olaba otya singa abamu babeera waggulu (mu kalina nga

31) Essuula Bakara: 223

balengera) w'abalala? Nnabbi nagamba nti; " bwosobola

okubikka baleke kumulabako kikole." Nenngamba nti: olaba

otya singa wabeera tewali kibikka? Nnabbi nagamba nti: " Allah

y'alina okukwatibwa ensonyi okusinga." Almustadiriku (7358)

- Era buli omu waddembe okuwomerwa munne mu

kaboozi k'ekikulu mu ngeri buli omu gyanyumirwamu ebbanga

lyebamala nga tebakoze sodoma (nga bali mu kifo ewava

omwana). Hadithi eva ku Ibun Abbasi yagamba nti: Umaru lumu

yajja ewa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nagamba

nti: nzikiridde! Nnabbi namugamba nti: kiki ekikuzikirizza?

Umaru nagamba nti: nnakyusizza olugendo lwange ekiro

(nagenze eri mukyala wange nga nviira mabega). Nabbi

natamuddamu, Allah nassa eri Omubaka okusaasira n'emirembe

bibeere ku ye obubaka obugamba nti:

أ شئز فؤرا دشصى دشس ى ""غبإو

Amakulu: {Abakyala bammwe ze nnimiro zammwe (mwe

mufuna abaana) kale mujjenga mu nnimiro zammwe mu ngeri

gye mwagala …} (223)

Nagamba nti: " vva mumaaso, ove emabega, naye wewale

okumusiyaga, (era omwewale) n'ebiseera bya Haidhwi

(emusaayi gw'abakazi buli mwezi)."Ibun Hibbaan 9/516

Wabula hadithi eyo tetegeeza nti twewale bakyala baffe nga bali

munsonga tutuuke nekuddaala ery'obutatuulako nabo, oba

obutalya n'okunywa nabo. Aisha Allah asiime ku ye

anyumyan'agamba nti: "nnali nnywa nga ndi mu nsonga

olvannyuma nempa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

nateeka omumwa gwe wentadde ogwange nanywa, era nga

nnuma ekifi nga ndi mu nsonga oluvannyuma nempa Nnabbi

okusaasira n'emirembe bibeere ku ye n'aluma wennyini

wennumye. " Musilim (300)

Era tekitegeeza nti talina kubeera na mukyalawe n'anyumirwa

era tekigaana mukazi kunyumirwa bba. Anasi annyumya

nagamba nti: abayahudi omukyla mu bo bweyagenda nga

munsonga, nga (bamwewala) tebalya naye, tebagatta naye mu

nsonga z'amaka, abagoberezi ba Nnabbi nebabuuza Nnabbi

okusaasira n'emirembe bibeere ku ye kunsonga eyo, Allah Nasa

etteeka erigamba nti:

"ذ١غ... ٠غؤه ػ اذ١غ ل أر فبػزضا اغبء ف ا "

Amakulu: {Era bakubuuza (Ggwe Muhammad) ku mukyala nga

ali mu nnaku zaabwe (nga bali mu Heezi). Bagambe nti: Gwo

(omusaayi), kyenyinyalwa. Kale mwawukane n'abakyala

(obuteegatta nabo) nga bali mu bulwadde bwabwe (nga bali mu

Heezi)} (222)

Omubaka wa Allah nagamba nti: " mukole buli kimu okuleka

okuyingira mu bukyaala" n'etuuka hadithi eyo ku bayahudi

nebagamba nti: omusajja oyo tayagala kuleka yo kintu kyonna

munzikiriza yaffe okujjako nga atwawukanako. Asiyadu bun

Hudwairi ne Abbaadu bun Bishiri nebagamba nti: owange

omubaka wa Allah: abayahudi bagambye bino na bino. Lwaki

tetwegattira ddala n'ebakyala baffe (nga bali mu nsonga

netubaawukanirako ddala). Ekyenyi kya Nnabbi nekikyuka

okutuusa bwebalowooza nti abanyigidde (olw'obusungu),

nebafuluma n'ekibasisinkana ekirabo agaali amata

agaweerezeddwa Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye,

nnabbi nabatumya n'abanywesaako, nebakitegeera nti Nnabbi

teyabanyiigidde." Muslimu (302).

Ne Jaabiri yanyumya nagamba nti: Abayudaaya baagereesanga

nti omusajja bweyegatta ne mukyalawe nga ayita mabega,

omwana azaalibwa nga wandali, okutuusa etteeka lya Allah

bwelyakka erigamba nti: )غبإو دشس ى( {bakyala ba mmwe

nnimiro zammwe} bwayagala akole kabuzi (omukyala nga

yeebakidde ku kyenyi kye nga alinga avunnamye), oba yeegatte

32

) Essuula Bakara: 222

naye nga bwayagadde kasita ayingira mu buwala."Ibun Hibbaani

(4166).

- Era kiri mu nkola ya Nnabbi okusoma erinnya lya

Allah g'agenda okwegatta ne mukyalawe, era nasoma edduwa

eyava ku Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

mukigambo kye nti: " singa omu mummwe bwayagala

okwegatta nemukyalawe agamba nti: kulwerinnya lya Allah, Ayi

Allah tukingirize sitaane n'omwana gwotugabiridde naye

omukingirize sitaane. Mazima singa Allah abagabirira omwana

mu mbeera eyo sitaane tejja kumukosa ebbanga lyonna."

Bukhari (6025).

- Era nga bwekyetaagisa okuzanyyikiriza omukyala

n'okumukwata empola, n'okumunywegera okusembeza obwagazi

bwe, nabwekityo okumulinda mpaka naye bwatuuka kuntikko

y'omukwano.

- Nabwekityo nkola ya Nnabbi nti bwayagala okuddamu

ekitundu eky'okubiri anaabe, oba afune wuzu nga bwagifuna nga

agenda okusaala. Olw'ekigambo kya Nnabbi ekigamba nti: "

omu kummwe bweyegatta ne mukyalawe n'ayagala okuddamu

(okwegatta naye) afune wuzu."

- Olw'ensonga nti ekikolwa ekyo kiraga buyonjo, era

kimu kibizzaamu amanyi okusobola okuddamu okwegatta.

Okuzannyiikiriza n'okuzannya n'omukyala mu

kunaaba; okuzannya n'omukyala tekikoma mu buliri mwokka

wabula mu buli kintu omuli okunyweza amaka n'okulongoosa

enkolagana, n'omukwano, mu buli mbeera yonna esoboka, kasita

kibeera nga tewali abalaba wadde abawulira. Hadithi eva ku

Aishayagamba nti: "nnali nnaaba ne Nnabbi mu bbaafu emu nga

buli omu amaliramu munne amazzi nga NNabbi bwagamba nti:

ndekeraamu, nga nange mugamba: ndekeraamu. " swahiihi

annasai.

Okuzanyiikiriza n'okuzannya mu nnyumba. Shuraihi

bun Hani-I yabuuza Aisha Allah asiime ku ye Maama wa

bakkiiriza nti: kintu ki Nnabbi kyeyatandikanga nakyonga

ayingidde ennyumba ye? (Aisha) Nagamba nti: na kusenya."

Musilimu.

Oba olyawo ekigendererwa kwalinga kutukuza nakulongoosa

kamwa asisinkane mukyalawe.

Okuzannya n'omukyala wabweru w'ennyumba,

akakwakkulizo akaliko era nga bwetwayogeddeko emabegako

nti kirina okubeera wala n'okulabwa kw'abantu wadde

okuwulirwa. Hadithi nga eva ku Abu salama bun AbduRahman

yagamba nti: Aisha Allah asiime ku ye yanngambanti yali ne

Nnabbi mu lugendo nga akyali muwala muto, Nnabbi nagamba

abagoberezi be nti: mutambule mugende mu maaso"

oluvannyuma nagamba Aisha nti jangu tusimbuke (mu mbiro),

Aisha n'amusinga mu misinde. Oluvannyuma twafuluma

okugenda mu lugendo nagamba abagoberezi be nti: mutambule

mugende mumaaso, oluvannyuma nagamba Aisha jangu

tusimbuke" ngannerabidde omulundi guli ogwasooka ate nga

ngezze, nenngamba nti: nyinza ntya okusimbuka naawe nga ndi

mu mbeera eno gyolaba! Nnabbi nagamba nti: ojja kukikola.

Netusimbuka n'ansinga. Nanngamba nti: "guno gusasudde guli

ogwakusooka." Attwabaraan alkuburah (8945).

Oboolyawo kyatteeka wano okukirambika nti tekikkirizibwa

kwogera byama bya mu kisenge ebibeera Wakati w'abafumbo

n'okugifuula emboozi ey'okutwala ebiseera, olw'ekigambo kya

Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ekigamba nti:

"mazima mu bantu abasinga ekifo ekibi mu mumaaso ga Allah

ku lunaku lw'enkomerero, mulimuomusajja eyeyambulira

omukazi, n'omukazi eyeyambulira omusajja oluvannyuma omu

kubo naayolesa ebyama bya munne." Musilimu (1437)

Era olw'okwagala okuwangaaza enkolagana wakati w'abafumbo,

n'okuzimbibwa kw'ennyumba ensiraamu eyo ekuza ekitundu

omutali kwawukana wadde okuyombagana, amateeka

g'obusiraamu gasomesa obuvunanyizibwa bwa buli omu

mubafumbo eri munne, era buli omu mu maka amanye byalina

okukolera munne n'ebyo byalina okuweebwa.

Kitumalira okunnyonnyola obuvuananyizibwa buno, okulaga

ezimu ku ayaat okuva mu Kur'ane, ne hadithi z'omubaka omuli

okusomesa obuvunanyizibwa bw'omukyala eri bba olw'okutya

okuwanvuya, era namwo mulimu;

Allah agamba nti:

خ١شا ف١ للا ٠جؼ رىشا ش١ئب فؼغ أ ز وش ؼشف فب ثب ػبشش "

( " 9وض١شا )

Amakulu: {… Kyokka mukolaganenga nabo mu ngeri ennungi.

Bwe muba nga mubatamiddwa (temubatanga), (kubanga)oba

olyawo mwanditamwa ekintu, ate Allahn'akissaamu obulungi

obungi.} (19)

دسجخ جبي ػ١ ش ؼشف ثب از ػ١ ض " "

Amakulu: {… Era balina abakyala (bye bavunaana abasajja)

okufaanana nga ebyo ebiri ku bo (abasajja bye babavunaana)

naye nga babikola mu ngeri y'obuntubulamu, kyokka abasajja

balina eddaala (enkizo gye basing ku bakyala)}

Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "

abasinga obulungi (mumwe) yooyo abasinga obulungi eri

bakyalabe, nange nze mbasinga (okuyisa) obulungi eri bakyala

bange." Ibun Maajat (1977)

Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" asinga

obukkiriza obujjuvu mu bakkiriza yooyo abasinga empisa

ennungi, era abasinga obulungi beebo abasinga obulungi eri

bakyala baabwe."ibun Hibbaan (4176)

33) Essuula Annisai: 19

34) Essuula Bakara: 228

Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye: "…

mutye Allah mu bakyala bammwe, mazima mwabafuna

lwandagaano ya Allah, era obwerere bwabwe nebukkirizibwa

kummwe lwakigambo kya Allah." Musilimu (1218)

Agamba omubaka okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:

"omukkiriza (omusajja)tasaanira kwabulira mu kkiriza (mukazi),

bwatamwa ku ye omuze ate asiime empisaze endala." Muslim

(1469).

Era mu Hadithi nga eva ku Hakiimu bun Mu-awiyanga ajja ku

kitaawe yagamba nti: nagamba nti; owange omubaka wa Allah,

omukyala biki byalina okumukolera omu muffe? Nagamba nti: "

muliise bwobeera olya, era omwambaze bw'obeera

oyambala."Abu Dawuda (2142)

Obujjuvu bwa Allah yekka.

Kitumalira okuleeta ezimu ku Ayaat, ne hadithi z'omubaka

eziraga obuvunanyizibwa bw'omusajja eri mukyalawe, kitutaase

obutawanvuya nnyo, era tomanya okulaza kusobola okumalira

ebigambo.

Allah yagamba nga atendaabakyala abalongoofu nti:

" ب دفع للا غ١ت ث بذبد لبزبد دبفظبد " فبظ

Amakulu: {… N'olw'ekyo abakazi abalongoofu be bo

abawuilize, era abakuuma ebyama (bya babbaabwe) mu

butabaawo (bwabwe) ku lw'ekyo Allah kye yabakuumisa.}

Mu Hadithi nga eva ku Huswaini bun Muhswin yagamba nti:

senga yannyumiza n'agamba nti: nnagenda ewa Nnabbi

okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nga nnina obwetaavu,

35) Essuula Annisai: 34

Nnabbi n'ambuuza nti: owange ggwe, oli omusajja. Nenngamba

nti: Yye. Nagamba nti: weeyisa otya gyali? Naddamu nti:

ssimujuza okujjako ekyo ekinnemeredde. Nagamba nti: kyonna

ky'oli, eyo y'ejjanaayo era gwemuliro gwo." Mustadiraku 2/206.

Mu Haithi nga eva ku Abu Huraira yagamba; yagamba omubaka

wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye nti: " omukazi

bw'asaala eswalaze ettaano, n'asiiba omwezi gwe ogwa

(ramanzaane), n'akuuma obwerere bwe, n'agondera bba, ajja

kuyingira omulyango gwe jjana gwonna gwanabeera ayagadde."

Ibun Hibbaani (4163).

Hadithi nga eva ku Mu-aazi ibun Jabalu Allah asiime ku ye

agamba nti yagenda e shaami n'alaba abakurisitaayo nga

bavunnamira bakabona baabwe, n'abakulumbeze b'e ddiini,

nnalaba abayudaaya nga bavunnamira abamanyi n'abakulembeze

baabwe mu ddiini, n'ababuuza lwaki mukikola ekyo?

Nebamugamba nti eyo y'ennamusa eyalamusibwanga ba Nnabbi

ba Allah Allah asse okusaasira ku bo, nenngamba nti; ekyo ffe

abasookerwako okukikolera Nnabbi waffe okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye. Nnabbi okusaasira n'emirembe

bibeere ku ye nagamba nti: balimbiridde bannabbi baabwe, era

nga bwebakyusa ebitabo byabwe, singa mbadde wakulagira

muntu kuvunnamira muntu yenna, nnandiragidde omukyala

avunnamire bba, olw'obuvunanyizibwa bwalina gyali, era

omukyala yenna tayinza kukomba kubuwomerevu bwabukkiriza

okutuusa nga atuukirizza obuvunanyizibwa bwa bba,

nebwekubeera kumwewa (mu nsonga z'obufumbo) ng'ali

kumugongo gw'anngamiya singa abeera

akimusabye."Mustadiraku (7325).

Obufumbo mu busiraamu kintu ekigulumizibwa, n'olwensonga

eyo, obusiraamu bwafaayo nnyo ku bintu ebinyweza enkolagana

wakati w'abafumbo ababiri, olw'okutaasa endagaano y'obufumbo

obutakutukawo, era tewali kiyinza kulaga kitiibwa kyabufumbo

kusinga kubeera nti Allah yabuyita " endagaano

enzito(eyamaanyi). Allah agamba nti:

١ضبلب غ١ظب ) ى أخز " " )

Amakulu: {… ne baggya ku mmwe (abakyala abo) endagaano

enzito (ey'obufumbo n'okukuumagana mu ddembe)?} (21)

Era kimala okulaga ekitiibwa kyendagaano eyo okubeera nti

Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye yagamba nti: "

omuntu apaaza omukyala okumujja ku bba, oba omuddu

okumujja ku mukamawe ssiwa mu ffe. N'omuntu alayira

obwesigwa ssi wa mu ffe." Ibun Hibbaani (4363).

Newankubadde obusiraamu bugulumiza obufumbo nga

bwetulabye, nayeera talaka mu bufumbo yateekebwawo singa

obuzibu wakati w'abafumbo bulinnya enkandaggo, nga tewali

kisobola kubugonjoola okujjako okwawukana (talaka),

olw'okutya okusaasana kw'obukumpanya wakati wa bafumbo

mu maka, n'ebivaamu nga okutabika ennganda, okusikiza

abatalina kusika ku mmaali y'abafu, okumma abalina okusika,

nabwekityo okusaasana kw'obwenzi mu bantu, kale n'ensonga

ennafu nga okugamba nti; ennyumba eyo ebeera tesobola kulera

baana bulungi olw'enjawukana n'obukyayi obubeera wakati

w'abafumbo ababiri, ebyo byonna bisobola okubbulukukira mu

baana.

Wabula okwawukana kuno kukomeke sso tekuteebwa

bulambalamba, talaka eleme kubeera muzannyo buli omu

mwazannyira. Abamanyi bannyonnyola nti talaka eyina

emitteko, eyinza okubeera;

36) Essuula Annisai: 21

1. Yatteeka (yaabuwaze), singa ebeera esaliddwawo

abalamuzi ababiri (abava ku njuyi zombi) nga waliwo

obutakkanya obwamanyi wakati w'abafumbo, olw'ekiragiro kya

Allah ekigamba nti:

٠ش٠ذا اطالدب ب ا أ ب دى أ ب ب فبثؼضا دى شمبق ث١ خفز ا "

ب خج١شا ) ػ١ وب للا ب ا ث١ فك للا ٠ " )37

Amakulu: {Bwe muba nga mutidde enjawukana wakati waabwe

bombiriri (omusajja ne mukyala we), musindikeyo

omutaawuluzi ku ludda lw'omusajja n'omutaawuluzi okuva mu

bantu b'o mukyala. Bwe baba nga baagadde bombiriri

okutabagana, Allah agatta wakati waabwe: Mazima Allah ye

Mumanyi, Ategeera ebyama byonna.} (35)

2. Talaka eri haraamu (eyaziyizibwa), okwawukana nga

tewali nsonga, oba nga tewali bwetaavu, era eyo talaka ibiliisu

(sitaane enkulu) gy'eluubirira. Olw'ekigambo kya Nnabbi

okusaasira n'emirembe bibeere ku ye ekigamba nti:" Mazima

ibiliisu eteeka nnamulondo yaayo ku mazzi, netuma amaje gaayo

(mu bantu), sitaane esinga eddaala yeeyo esinga ebikemo

eby'amanyi (mu kubuza abantu), sitaane emu ejja (neeyanjula

byekoze) n'egamba nti nkoze kino ne kino, (Ibiliisu) n'egamba:

tolina ky'okoze. Endala nejja n'egamba: ssi muviiriddeeko awo

mpaka bwemmwawudde ku mukaziwe, (ibiliisu) n'amusembeza

n'amugamba nti: wamma ggwe (wakoze bulungi)."Musilimu

(2813).

3. Talaka eyateebwa (ekkirizibwa singa kyetaagisizza),

gamba singa omukazi alina emize emibi, nga n'enkolaganaye

mbi, wabula kirina okumanyibwa nti obugumiikiriza mu mbeera

eno bwetaagisa nnyo naddala singa babeera balina omwana.

4. Talaka ekkibirizibwa, singa omukyala abeera

tatuukiriza mateeka ga Ddiini, oba singa abeeramu embaliga,

n'abuulirirwa n'alema.

37) Essuula Annisai: 35

Nabwekityo omusajja bwabeera tatuukiriza mateeka ga Ddiini,

oba singa abeeramu embaliga, oba nga ssi wakitiibwa, oba nga

wa mpisa mbi, takwata bulungi mukyalawe, oba nga alina

obulemu omukyala bwatasobola kugumiikiriza, okugeza singa

omusajja abeera kigoye nga tasobola kukiika, omukazi alina

ebbeetu okusaba okwawukana naye.

Obulamu bw'obufumbo bwebubeera nga temuli nkwatagana,

n'omukwano, n'enkolagana ennungi wakati wabafubo, mazima

obulamu buno bwefuula, mukiffo ky'okubeera okutebenkeza

n'okusaasira, bufuuka obulamu obw'akanyigo n'okuzitowererwa,

singa abafumbo buli omu atamwa munne, newankubadde

obusiraamu mu mbeera eno bukubiriza obugumiikiriza,

n'okwennganga embeera. Allah agamba nti:

ف١ للا ٠جؼ رىشا ش١ئب فؼغ أ ز وش ؼشف فب ثب ػبشش خ١شا " ( " 9وض١شا )

8

Amakulu: {… Kyokka mukolagane nga nabo mu ngeri ennungi.

Bwe muba nga mubatamiddwa (temubatanga), (kubanga) oba

olyawo mwanditamwa ekintu, ate Allah n'akissaamu obulungi

obungi.} (19)

Wabula embeera singa etuuka ku ntikko neetasobola

kwenngangibwa wadde obugumiikirizibwa, mazima obusiraamu

bwakkiriza omukazi okusaba okwawukana (talaka). Wabula

singa obukyayi bubeera ku ludda lwa musajja okutalaka

buvunanyizibwabwe, naye singa obukyayi buva ku ludda lwa

mukazi eri bba, naye alina ebbeetu lw'okusazaamu obufumbo

ng'ayita mu kusaba okumuta (khulu-u), era alina okuzza amahale

g'omusajja geyamuwa asazeemu obufumbo, era ekyo ky'ekiraga

38) Essuula Annisai: 19

obwenkanya bw'obusiraamu kubanga omusajja y'agaba amahale

era yeeyeetikka ebisale by'okuwasa. Allah agamba nti:

ف ب دذد للا ٠خبفب أال ٠م١ ش١ئب اال أ ب آر١ز رؤخزا أ ى ال ٠ذ " خفز ب

" ب افزذد ث ب ف١ فال جبح ػ١ ب دذد للا أال ٠م١9

Amakulu: {… Temukkirizibwa kutwala ekintu kyonna kw'ebyo

bye mwabawa (ebyabawasa); wabula mpozzi nga batidde

bombiriri obutayimirizaawo (obutakuuma) nsalo za mateeka ga

Allah. Bwe muba mutidde nti tebajja kuyimirizaawo nsalo za

mateeka ga Allah, (olwo) tewali kibi kubo (abaami okutwala)

ekyo kye baba beenunuzza abakyala……}

Ibun Abbaasi annyumya n'agamba nti; Jamiilat Bint Saluula,

yajja eri Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

n'amugamba nti: ndayira Allah ssinenya Thaabiti nsobi yonna

mu ddiini, wadde mu mpisa, wabula ntya (okukola)obujeemu mu

busiraamu, nnamukyawa ssikyamuyinza, Nnabbi okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye n'agamba nti: " okkiriza okumuddiza

ennimiro ye? " n'agamba nti: yye. Nnabbi okusaasira n'emirembe

bibeere ku ye n'alagira thabiti amujjeko ennimiro ye, aleme

kumwongezaamu."Ibun Hibaani.

Ekigendererwa ky'obusiraamu emabega w'ekyo, kw'ekukuuma

ebitiibwa by'abantu obutakkakkanyizibwa, nabw'ekityo

okukuuma abantu nga buyita mu kuggala emiryango gyonna

egisibukamu obw'ononefu buleme kutuuka eri bantu, kubanga

omusajja okuwangaala n'omukazi gwatayagala, nabw'ekityo

omukazi okuwangaala n'omusajja gwatayagala kireeta

bwewatabeerawo kukugira kwa ddiini okw'amanyi, okusaasana

kw'enkolagana etali nnunngamu (embaliga) oba eyo

etakkirizibwa, yensonga lwaki talaka yakkirizibwa, Era Allah

ayogera mazima bulijjo nga bweyagamba nti:

" عؼز وال للا لب ٠غ ٠زفش ا "

39) Essuula bakara: 229

Amakulu: {Bwe baba nga baawukanye, Allah agaggawaza buli

omu ku bombiriri(ng'aggya) mu bigabwa Bye …} (130)

Obusiraamu bwaziyiza obwenzi nebubuteeka mu mazambi

kungwa, era nga bwebwaziyiza ensonga zonna ezisembeza

abantu eri obwenzi, Sayyid Kutwubu agamba nti: " obusiraamu

bwayagala kulwanisa mbeera abantu obuteeyisa nga bisolo,

ebitayawula wakati wa kirungi na kibi, era buluubirira okuzimba

ennyumba, n'ekisu, n'otondawo obulamu obw'awamu

obutakutukawo nakuvaawo kwa mubiri gumu, era buluubirira

okuzimba enkolagana wakati w'omusajja n'omukazi kunsibuko

ey'obuntu ey'owaggulu, eyo efuula okusisinkana kw'emibiri

ebiri, n'emitima ebiri, n'emyooyo ebiri, mu bufunze abantu

ababiri, nga balina obulamu bwebumu, n'ebiluubirirwa byebimu,

n'okulumwa kumu, n'omulamwa gumu, omugenda okufunibwa

ezzadde eddungi, libeere omugigi omupya, ezzadde eryo

erisibuka mu kisu ekimu, ng'abazadde bombi bafaayo

okubalabirira nga temuli kwawukana. Okusinziira kw'ekyo

obusiraamu bwakalubya nnyo ekibonerezo ky'obwenzi,

n'okutuuma obw'enzi nti ssi kikolwa kya buntu, kubanga

kyonoona emigaso egyo gyonna, n'ebirubirirwa ebirungi ebyo

nebisuulibwa, n'ekifuula omuntu nga ali mu kifaanayi ky'ensolo,

nga tataliza kikazi wadde kisajja. Kyafaako kwemalako nnyonta

mu mbeera yonna, singa ate abeera asobodde okwawula, talina

kigendererwa kirala kyonna okujjako okuwomerwa

n'okunyumirwa. Talinaamu kigendererwa kya kwezimba, wadde

okuzimba ensiye, okutuusa nti talinaayo kwegomba kwonna

kuyinza kuvaamu migaso. Wabula okufaayo okw'obukuusa

40) Essuula Annisai: 130

abantu kwebatambuliza ku nnimi naye nga mubutuufu kufaayo

kwa mu nsiko (kwabisolo) nga bakwambazza ekifananyi

ky'okufaayo okw'obuntu mu mbeera ezimu. Obusiraamu

tebulwanisa by'etaago eby'obuntu, era tebubitwala

ng'ekyenyinyalwa, wabula bubiteekateeka nebubitukuza okuva

ku ddala lye ttale, nebubilinnyisa eddaala, okutuusa lwebifuuka

enkola etambulirwako empisa z'omuntu kinnoomu n'abantu

bonna okutwaliza awamu. Naye obwenzi naddala obwamalaaya

bwambula obwetaavu bwamayengo g'omwooyo, n'obwetaavu

obw'owaggulu ennyo, n'emumpisa zonna eziri mu kwegatta mu

byafaayo by'obuntu ebyaava edda ennyo, olwo nekyeyoleka

bukunya nga kyamanyi, nga kyenyinyalwa, mpozzi nga bwekiri

mu bisolo oba n'okusukka kubisolo, olw'ensonga nti ebisolo

n'ebinyonyi ebimu biwangaala ekikazi n'ekisajja okumala

ebbanga ddene nga byewaayo okubeera byombi, nga tebigenda

kubirala nga bwekiri mu bwenzi mu bantu abamu. 41

Wano katukufundize ebimu ku kibiva mu nkolagana wakati

w'abasajja n'abakazi ezitalina kkomo, era nga n'ekimu

kubivaamu eky'olubeerera bwe bwenzi:

Okusaasana kw'endwadde nnamuzisa, n'endwandde

ez'akabi, n'endwadde ezo ezibuna nga tezikoma ku nannyini

kikolwa yekka, wabula zibuna bonna (nnaalumanya ne

ssaalumanya). Allah agamba nti:

عبء عج١ال ) فبدشخ وب ب ا ال رمشثا اض "" )

Amakulu: {Era temusemberera nga obwenzi. Mazima bwo kyali

kibi kuva ddi na ddi era ly'ekkubo erisinga obubi.} (32)

Ne Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye agamba nti: "…

bannange mmwe abasenguse (Muhajiruuna) ebintu bitaano

bwemunagezesebwa nabyo nebituuka mu mmwe, nnekingiriza

41) bisange mu kitabo ekiyitibwa ((zwilaalu al-Kur-aani)) ((ظالي امشآ)).

42) Essuula Al-isra: 32

eri Allah bireke kubasangawo.Tebuyinza kusaasana obwenzi

mukitundu nebabwettanira okujjako nga amataba n'endwadde

bibatuukako ebyo ebitaali mwabo abaabasooka, era tebayinza

kukendeeza bipimo n'ebigero okujjako nga enjala n'obwaavu

bibagwira, n'okulyazamanyizibwa kw'abakulembeze, era

tebayinza kugaana kutoola zzakat okujjako nga bammibwa

enkuba okuva mu ggulu, era singa tebyali bisolo bandibadde

tebatonnyesebwa nkuba, era tebayinza kwawukana ku ndagaano

ya Allah n'omubaka we okujjako nga abalabe baabwe

babeelippako okuva ebweru, nebabawambako ebyabwe, era

abakulembeze baabwe bwebalekayo okulamula n'ekitabo kya

Allah okujjako nga Allah ateeka wakati wabwe enjawukana."

Mustadiriku (8623).

Era obwenzi bumalawo obulungi n'ekitiibwa, olw'ensonga nti

akola obwenzi ammibwa obutukuvu bw'omwooyo,

n'obuteerekereza bintu binyomebwa era eby'owansi, ekyo

nekimufuula ng'ensolo, nga ekigendererwa kye kya kwekkusa

nakumala kyetaagokye nga tafuddeeyo mungeri ki

gyakimazeemu, nabwekityo obwavu bumwetoloola olw'ensimbi

n'amanyi n'obudde by'asaasanya mukweyagala

okutakkirizibwa,ebyo nebireeta okusalwa n'okwejjusa mu nsi

nabwekityo ebibonerezo ebiruma ennyo kunkomerero.Era kiri

mu zimu kunsonga ezikendeeza obuwangaazi bw'omuntu

kubanga okukola eby'onoono kiteeka obulamu bwe kubunkeeke,

era nsonga ereeta endwadde ezo ezivaako okufaakwe amangu.

Okusaasana kw'abaana bw'obwenzi. Tewali

kubuusabuusa nti okubeerawo kw'abaana abammiddwa enkuza

ey'obutonde nebatafuna okufiirwakwo n'okwagalwa kw'amaka,

ago agalimu taata ne maama kyenkanyi. Era nebatafuna

kubuulirirwa n'okulunngamizibwa ku nneyisa okuva mu bazadde

bombiriri, ebyo omuntu omulala byatasobola kubawa. Waliyo

akabinja mu bantu abalina embeera ezitategeerekeka, bansaalwa

mu mbeera ezisinga obungi, olw'ensonga nti tebaabafaako. Anna

fruwedi agamba mukitabyo kye ekiyitibwa " Abaana abatalina

baabwe ku kukosebwa kw'omwoyo, okwo okulondoola enkuza

y'abaana mu bifo gyebakuumirwa n'emubifo gyebarerwa,

n'ebivaamu mu kutankana mu byebakola n'obulemu mu mpisa

ezitalabikalabika, emisomo egikwata ku nkula y'abantu

gyegitayinza kugolola okujjako nga amanyi ag'enjawula

gateereddwamu singa kibeera kisobose"43

Okusaasana kw'endwadde z'emitima ezirimu ennaku

n'obukoowu, n'okuwulira obukendeevu n'okwekubagiza buli

kaseera, n'okwenyooma biri mu mpeera z'okweligomba

okutakkirizibwa mu ddiiini, Allah ayoyegera mazima buli jjo era

yagamba nti:

أ آ٠بر خ " سد دح ث١ى جؼ اجب زغىا ا١ب أص أفغى خك ى

( ٠زفىش ه ٠٢بد م ف ر ( "ا

Amakulu: {ne mu bubonero bwe (Allah) mazima yabatondera

nga aggya mu mmwe mwennyiniabakyala mulyoke mutebenkere

gyebali, era n'ateeka wakati wammwe okwagalana

n'okusaasiragana. Mazima mw'ebyo mulimu obubonero (obulaga

obuyinza bwa Allah) eri abantu bafumiitirize}

Okusaasana kw'enkwatagana ez'akavuyo wakati

w'abasajja n'abakazi kisaasanya obuvuyo mu mpagaala y'abantu.

Kimaanyikiddwa bulungi nti ekiwaga era ekisunda abantu

okubbinkira mu binyumo, era ssente bwezibaggwako banonya

amakubo gonna agasoboka, okuzifuna. Bayinza okubba,

okukwenyakwenya mu nkolagana, n'okulimba, n'obukumpanya,

n'enguzi n'ebirala okufuna ssente ezinaabasobozesa okutuukiriza

byebagaala n'ebinyumo byabwe, nebwezibeera zaamulala, oba

ssi kyo okunyaga n'okukuluusanya abalala singa babeera

tebazifunye.

Okukka kw'ebibonerezo ebyo Allah byeyalanganisa

abantu singa obwenzi busaasana mu bo. Yagamba omubaka wa

43) "omuntu wakati wa kirereese n'obusiraamu" - Sayyid ktwubu

44) Essuula Arruumu: 21

Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku ye:" ekibiina kyange

kijja kusigala nga kiri bulungi ebbanga lyebanaamala nga abaana

b'obwenzi tebasaasanye mubo, abaana b'obwenzi

bwebanaasaasana mu bo, Allah ayinza okubabunyisa

ebibonerezo." Ahmad (26873)

Tunokoddeyo mu kitabo kino era netusonga ku bimu obusiraamu

byebwogera kunsoga z'obufumbo nga ekigendererwa kibeere

ekisumuluzo eri oyo ayagala okweyongera okumanya ebingi

ebikwatagana kunsonga eyo enkulu ennyo mu bulamu

bw'omuntu, era tulabye amakubo obusiraamu mwebuyita

okulunngamya n'okugulumiza ensonga z'obufumbo okutuuka ku

ddaala lya ibaada, eyo esasulwa empeera singa omusiraamu

abeera obwagazi abukozesezza mu kkubo ettuufu erikkirizibwa

eryo obusiraamu bweryamuteerawo. Nabwekityo ekitabo kino

ky'ongere abantu amanyi okweyongera okusoma ebyo ebikwata

kuddiini eno enkulu ennyo, ebuna era eyeetoolodde ensonga

zonna ezigasa omuntu mu bulamu bwe nga kinnoomu n'abalala

bonna okutwaliza awamu.Nabwekityo eddini eyo yeetoolodde

ensonga zonna ezigasa omuntu n'oluvnnyuma lw'okufa, kubanga

bwalaga nti omulimu gw'omusiraamu tegufa ttayo oluvannyuma

lw'okufakwe singa agukola nga anonya mpeera mu maaso ga

Allah, wabula empeera z'omulimu gw'alese zisigala

zimusasulwa, yagamba omubaka wa Allah okusaasira

n'emirembe bibeere ku ye nti: " omuntu bwafa emirimu gye

gikutukawo okuleka emirimu esatu, saddaaka ekulukuta, oba

okumanya okugasa, oba omwana omulongoofu asigala

amusabira." Musilimu (1631)

N'ekigambo kya Nnabbi okusaasira n'emirembe bibeere ku ye

ekigamba nti: " omuntu akowoola eri obulunngamu afuna

empeera ezenkana empeera z'abagoberezibe naye nga

tebakendezeddwa ku mpeera zaabwe n'akamu, ate omuntu

akowoola eri obukyamu afuna ekibi ekyenkana ebibi

by'abagoberezibe nga nabo tebakendezeddwa ku bibi byabwe

wadde n'akamu."Musilimu (2674)

N'ekiraga obugazi bw'obusiraamu, kwekuteeka essira ku nneyisa

mu buli kimu ekikwata ku bulamu bw'abantu, Hadithi nga eva ku

Salmaani yagamba nti: abatakkiriza baatugamba nti: ndaba

munnamwe (Muhammad) abasomesa buli kimu okutuusa nti

abasomesa empisa z'okugenda mu kaabuyonjo. Nagamba nti:

yye, kituufu, yatugaana okweyonja nga tukozesa omukono ogwa

ddyo, oba okumala ekyetaago nga otunudde mu kibula, era

yagaana n'okweyambisa obusa n'amagumba mukweyonja

(okusitanja), era yatusomesa nti: omu kummwe teyelongoosanga

n'amayinja agakka wansi w'asatu (3)." Musilimu (262).

Mubutuufu obusiraamu ddiini yamaanyi nnyo elondoola omuntu

mu buli kikolwakye kyonna n'okusirika kwe,

nebumuteekateekera obulamu bwe mu buli nsonga yonna,

embeera ye ddiini eno abasiraamu bateekeddwa okugyekwatako,

n'okugikwasa amagego, n'okukowoola abantu okudda eri eddiini

eyo nabo beeyagalire mu bulungi byaabwo. Era abatali

basiraamu basaanidde okugisoma bamanye obutufu bwaayo, nga

tebaliimu busosoze basobole okumanya emigaso gyayo,

banyumirwe obulungi bwayo. Mazima abusiraamu kisumuluzo

kya buli kirungi, era jjiji lya buli kibi.

www.islamland.com